Emboozi

Atalina musaayi kozesa ebikoola bya kerekedde

KEREKEDDE lye limu ku ddagala erizzaamu amangu omusaayi nga ne bwe bakugamba nti, oli waakulongoosebwa nga tolina musaayi n’olinywa ogufuna mu bwangu.Sarah Namulindwa, agamba nti, eddagala lino lyanguwa okukola omusaayi.

Atalina musaayi kozesa ebikoola bya kerekedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KEREKEDDE lye limu ku ddagala erizzaamu amangu omusaayi nga ne bwe bakugamba nti, oli waakulongoosebwa nga tolina musaayi n’olinywa ogufuna mu bwangu.
Sarah Namulindwa, agamba nti, eddagala lino lyanguwa okukola omusaayi. BW’OKOZESA EDDAGALA LINO
Funa eddagala lino olikaze ofumbe amazzi geesere oteekemu ku ddagala
lino bwe liwola onywe. Osobola okussaamu sukaali naddala ku baana kubanga
likambagga era olunaku nywa emirundi esatu okusinziira k bwangu bw’oliko
okufuna omusaayi.
Abeembuto olw’okuba omusaayi mugugabana n’omwana ali munda, kikwetaagisa buli kaseera okunywako okwongera ku bungi bw’omusaayi gwo. Ebirala ebireeta
omusaayi kuliko; supu w’ebijanjaalo, ebikoola bya ovakkedo, endagala ezengedde
n’ebbugga