Emboozi

Bannaddiini balung'amizza ku kubatiza abaana abato n'amakulu agakirimu

Bannaddiini balung'amizza ku kubatiza abaana abato n'amakulu agakirimu
By: Jackson Ssewannyana, Journalist @New Vision

Wabula Yesu gwe tugoberera ye yabatizibwa ali eyo mu myaka amakuni 30. Kino kitulekera ekibuuzo oba ddala okubatiza abaana abato tubeera tetuwabye.

Pr. Ivan Samuel Ssebaggala okuva bwa ssaabalabirizi bw’Abaseveniside ku kkanisa yaabwe eya Uganda Union, agamba bw’obikkula Bbayibula Abaruumi 6: 3-5, okubatiza kitegeeza okufa, okuziikibwa n’okuzuukira wamu ne Kristo.

Abazadde nga baleese omwana omuto okubatizibwa.

Abazadde nga baleese omwana omuto okubatizibwa.

Ayongerako nti, okubatiza Yesu ku myaka 30, tekitegeeza nti yali tasobola kubatizibwa ku myaka 15, oba 20.  Wabula nti, ku myaka 30, kwe batandikiranga okubala omuntu nti kati musajja akuze era eyeetengeredde. Noolwekyo nti, okubatiza abaana abato, si kituufu, kuba mu Makko 16:16 wamu ne mu Bikolwa by’Abatume 8:37-38, ebyawandiikibwa birambika nti, omuntu yenna abatizibwa, alina okubeera nga yekkiririzza ye kennyini. 

Yayongeddeko nti abaana abato, balina kusabirwa ne bawongebwa eri Katonda, abazadde ne batwala obuvunaanyizibwa okubayigiriza eddiini okutuusa lwe bakula ne beesalirawo.

Pr. Ssebaggala eyannyonnyodde.

Pr. Ssebaggala eyannyonnyodde.

 Msgr. John Baptist Ssebayigga ow’oku Eklezia ya St. Kizito e Bwaise, agamba, ne Yezu yagamba, muleke abato bajje gyendi era nti okubabatiza y’emu ku ngeri esembeza abato eri mukama waffe Yezu Kristu.

Musomesa John Nkajja, ow’oku Eklezia ya St. Jude mu kigo ky’abakatuliki eky’e Kakoge, agamba okubatiza kiruubirirwamu kuggya ku muntu ekibi ekisikire ekyatuleeterwa Adamu ne Kaawa. Ekibi ekisikire omuntu akifuna okuviira ddala nga yaakagwa bw’ati mu lubuto lwa nnyina.

Nkajja ayongera okunnyinnyola nti, okufa tekutaliza muto na mukulu, atenga bw’obeera tobatiziddwa, tobeera mukisinde kya Katonda era toligenda mu bwaka bwe kuba obeera n’ekibi ekisikire. Ku myaka emito, bazadde be bayimirirawo ku lw’omwana ne bamukubira ebirayiro ng’abatizibwa.

Msgr. Ssebayiga

Msgr. Ssebayiga

Wabula, omwana bw’ayingira mu myaka nga 12, asomesebwa eddiini n’ayongera okuteekebwateekebwa obulungi “Bishop” n’amussaako emikono n’akakasibwa mu Eklezia,

Faaza n’abasosodooti be balina obuyinza obubatiza. Wabula, n’omukristu eyabatizibwa naye asobola okubatiza munne. Naye alina kukikolera mu mbeera eteebeereka, gamba nga faaza oba omusaserodooti tebaliiwo.

Tags:
Emboozi
Eddiini
Kubatiza