Emboozi

Engeri gy'okozesa ekirungo ekikuuma amazzi mu ttaka mu kyeya

Abalimi baasabibwa  okwettanira enkola ez’enjawulo ezikuuma amazzi mu ttaka basobole okukungula ebirime ebiri ku mulembe

Engeri gy'okozesa ekirungo ekikuuma amazzi mu ttaka mu kyeya
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

Abalimi baasabibwa  okwettanira enkola ez’enjawulo ezikuuma amazzi mu ttaka basobole okukungula ebirime ebiri ku mulembe newankubadde ng’omusana ensangi zino gwaka nnyo okusinga bwe gwayakanga mu biseera ebiyise.

Omulimi Ng'alaga Enkozesa Y'ekirungo Kino.

Omulimi Ng'alaga Enkozesa Y'ekirungo Kino.

Bino byali mu mwoleso gwa New Vision ogwa Harvest money e Kololo abalimi n’abayiiya ab’enjawulo gye baayoleseza ebintu eby’enjawulo ebiyamba abalimi okusigaza amazzi mu ttaka omusana ne bweguba gwaka.

Mu kimu ku birungo ebikuuma amazzi mu ttaka kye kimanyiddwa nga Soil Water nutrient retainer nga kikwata amazzi mu ttaka era nga kisobola okukola ku birime byonna.

Joackim Birungi yannyonnyodde abalimi enkola y’ekirungo kino n’ategeeza nti ku birime ng’ennyaanya okiteeka mu kinnya n’okuziika mu ttaka.

 

Enkuba bw’ettonnya, ekirungo kino kigakwatira mu ttaka nga n’omusana bwe gwaka gaba tegafuumuuka olwo ekirime ne kisigala nga kinyirira ne- bwe buba budde nga bwa musana.

Ono yagambye nti ku birime ebiwangaazi ng’emmwaanyi n’amatooke, osima ekinnya ekitonotono okwetooloola ekikolo ky’ekimera n’oyiwamu ekirungo kino era amazzi ne gatakala mangu okuva mu ttaka.

Ono yagambye nti ekirungo kye kimu kino tekikoma ku kukwata mazzi mu ttaka wabula kikwata n’ebigimusa mu ttaka olwo nakyo ne kitafuumuuka n’oganyulwa mu bigimusa byo by’oba oguze.

Tags:
Emboozi