Bya Sarah Zawedde
OKUKUBA bbulooka kimu ku by’oyinza okufunamu ssente bw’oba oziyiiyirizza. Bwatyo Lukia Namatovu ow’e Kawempe bwe yatandise emboozi ye ey’okuyiiya ssente.
Bbulooka ezange nzeekubira naye bwe mba njagadde nteekako annyambako ne musasula 500,000/-. Nnina abannyambako okupanga tanuulu nga mbasasula 200,000/-gattako enku ze nkozesa okwokya bbulooka 850,000/-.
Muno nsobola okufunamu bbulooka 10,500. Nga buli emu ya 250/-. Bwe ziba tezikufiiriridde ofunamu 2,650,000/- nga bw’oggyako by’osaasaaanyirizzaako ssente osigala ofuna ekiwera.