Bya Vivien Nakitende
ARNOLD Kule, omusawo akola ogw’okulongoosa abafu mu kkampuni enziisi eya Rhino Funeral Services, anyumya engeri gy’alwanaganamu n’emirambo okugitereeza okugizza mu mbeera omuli n’okugikuba meekaapu ne pawuda, abantu basobole okugikubako eriiso evvanyuma nga girabika bulungi:
Nkola ku bafu ab’enjawulo omuli; abafiiridde mu bubenje, mu nnyanja, abamaze ennaku eziwera nga bafiiridde mu mayumba gaabwe, n’abafudde mu nfa enzibu ennyo, ne mbatereeza okutuuka ku mbeera y’abantu baabwe okusobola okubatunulako nga tebatiisa.
AFIIRIDDE MU MAZZI
Amazzi gavunza mangu omuntu, olw’okuba n’ebbugumu, ate afa alwana, aba anywedde amazzi mangi agamwonoona amangu ate ng’agongobadde emikono.
Ekizibu ekisooka kuba kuwunya olw’okuvunda, bw’aba yazimba nsooka ne mmukolako masaagi ne mmunyiganyiga n’akkakkana.
Wabula bw’aba aludde mu mazzi olususu lubeera luvaako, nga n’oluusi tubazzaako mu ffiriigi okuzza olususu.
Olubuto lw’afudde amazzi luba luzimbye, ndusala ne nkwata ebitundu by’omunda ne mbiggyamu amazzi.
Ebyenda n’ekibumba, bibeera ne gaasi kuba biba birwana n’amazzi okuwa omuntu omukka, naye nga bifuna mazzi nga bino byonna mbiggyamu n’atoowolokoka.
Awo mmuteekamu eddagala erimugaana okuwunya, ekivundu nsooka ne nkigumira okutuusa lwe mmuyiwako eddagala erikiziyiza.
Omuntu abaako ne w’asinziira okuwunya, bw’aba yafuna ekiwundu ku lubuto okuwunya kuyinza okutandikira awo, ekitundu kyonna ekyasamye kisobola okukuwa ekivundu, oluusi kiba kiva mu kamwa oba ennyindo.
Bwatafuna buyambi mangu kumulongoosa, asobola okuwaga n’ayabika olubuto kuba lwe lubaamu omukka ate lwe lulina olususu olutono.
ABAFIIRA MU BUBENJE
Waliwo aboobubenje, kisinziira kabenje ki, abamu bafuna okutiriika kw'omusaayi okw’omunda nga tafulumizza musaayi nga gwazze munda, ne wabaawo oli afunye akabenje ng’omutwe guvuddeko, gwabise, gukutuseemu wakati oba ng’omuntu akutuseemu ebitundu.
Omutwe bwe guba gwabise oba nga yakutuseemu, mmwabuluzaamu okusinziira ku kye yafunye, bw’aba yakutuseemu emisuwa gye tukozesa okumuteekamu eddagala.
AFUDDE OBULWADDE OBA EKIKUTUKO
Afudde mu mbeera eya bulijjo gamba abalwala oba nga yafudde kikutuko, abo okusoomoozebwa kwabwe kuba kutono.
Eyafudde ng’abadde alwalidde ebbanga, nga yafuna amabwa we yeebakidde, naye omujjanjaba mu ngeri ye ayawukana n’eyafudde eggulo.
Kye nazuula kiri nti, abafu bano tebawunya kye kimu, buli omu awunya okusinziira ku mbeera ye oba endya gy’alyamu.
OBUSAWO BW’ABANTU BWANNEMA NE NSOMA OKULONGOOSA ABAFU
Nga sinnatandika busawo nali nkola mu kkampuni enziisi, nga sibeera nnyo mu bafu naye nga mbamanyidde.
Nasooka kwagala kusoma busawo ne bigaana, naye ne nsalawo nkole ekintu ekyefaanaanyirizaako ekyo, ne nsalawo nsome bino eby’okujjanjaba emirambo.
Nagenda mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ne mbisomerera, nga tusoma ensisi eteekwa okukuggwaamu.
Bakuleka mu kizimbe wekka nga mulimu emirambo egisukka 20, bw’olaga okutya omusomesa akubuuza; “Otya omufu, agenda kukukolako ki?” otuuka ekiseera okutya ne kukuggwaamu.
Omufu ono gw’okolako buli bw’omuteeka ennyo mu birowoozo byo omuloota, buli lw’omulowoozaako akujjira, naye buli lunaku nkola ku bafu nga mukaaga, kale tosobola kulowooza ekyo. Kati nabimanyiira.
Omufu naddala ow’omu mazzi oba abafiiridde mu nnyumba ne bazuulibwa nga baluddemu, tebaba bangu kutereeza. Ow’omu mazzi takubika pawuda wadde kumusiiga liipusitiiki. Nakolako ku mulambo nga ngusiiga pawuda naye nga buli bwe mmukolako olususu lugendera mu ngalo kyokka nga bannannyini ye baagala tumukoleko, wabula byagaana.
EBYEWUUNYISA MU NFA Y’ABANTU
Enfa y’omuntu esooka n’ekwewuunyisa, eriyo abafa nga beewese n’olwanagana naye okumumenya omusale atereere.
Waaliwo abajja nga balina emikolo gye baagala okukola ku muntu waabwe, era tubaleka ne bagibeekolerako, ffe ogwaffe gwa kubatereeza babalabe nga tebatiisa.
OKUGOBA EBIROOTO
Bwe nnyinyuka, nkyusa ebirowoozo byange nti, wadde mbadde mu mirambo naye kati nzira waka, ate nnyinyuka nkooye ntuukira mu kwebaka mba sirina budde bwa kulowooza ku bafu.
Nasookanga ne nfuna okwekanga n’ebifaananyi by’abafu be nakolangako okunzijira, naye ebyo byakoma.
BAKULEKA MU NZIKIZA N’EMIRAMBO
Aba kkampuni enziisi tetulina kukakasa bantu nti, bafudde, mumuleeta mumaze okwekakasa nti, afudde.
Wabula okumukolako, nsooka kumusalako katono nga bwe mmwetegereza, okulaba nga teyeenyeenya, olwo nga ntandika ogwange.
Waliwo entunnunsi erwawo okufa ey’oku nsingo, bw’omukwatako ku ntunnunsi ya kkono nga tewali keenyenya, omanya abeera mufu.
Eby’omunda byonna tubiggyamu ne tubissaamu eddagala ne tubizzaamu bulungi ne tumutunga bulungi n’okumunaaza. Okuggyako nga oyagala okumanya ekyasse omuntu wo, awo tusalaasala buli katundu okuzuula ekituufu.
Twasomesebwa baserikale ba poliisi nga baatuyigiriza bulungi okukola omulimu guno awatali kutya kwonna.
Bakuleka mu kizimbe nga baggyeeko amasannyalaze n’emirambo ogenda okuvaayo ng’okapye.
Kkoosi katono ennemerere bwe baatusituza emirambo egivunze emiyitirivu okugitwala okuziikibwa nga twakatandika, kyandwa ku bwongo naye natuuka ne nkyerabira ne nsoma.
Siryerabira abazadde abaaloota omwana ng’azuukidde ne bamunona mu kiro
Rebecca Resty Nakayiwa, mukozi mu kkampuni ya Rhino Funeral Services agamba nti: Nze ntuukirwako bakasitoma ate oluusi nsulawo, nga n’awaka waliraanye eggwanika twawula madirisa.
Ekyanneewuunyisa waaliwo abaafiirwa omwana waabwe ne bamuleeta ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ne tumutereka mu ffiriigi ne baddayo, baakomawo ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ne batugamba tuggulewo baggyeyo omwana waabwe, mbu Katonda abaloosezza nti, omwana waabwe azuukidde.
Twamusanga avaamu n’omusaayi ne basaba essaala mu ggwanika okutuuka ku makya naye era baamuziika.
Ekifaananyi ekyannemera ku bwongo, kyali kya mwana eyatomerwa mmotoka ne bamuleeta naye yanzijira okumala emyezi ena okutuusa lwe nasaba Mukama amuntaase ne kikoma.