Ebirungo by'osobola okwongera mu bizinensi y'okwokya amadirisa n'enzigi okufunamu

Aug 03, 2023

OKUFAANANAKO n’emisono gy’engoye egikyuka buli kiseera, abakola engizi n’amadirisa ebigenda ku nnyumba ‘ebiriko’ bongeddemu ebirungo okusikiriza abaguzi ne kyongera ku nfuna yaabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

OKUFAANANAKO n’emisono gy’engoye egikyuka buli kiseera, abakola engizi n’amadirisa ebigenda ku nnyumba ‘ebiriko’ bongeddemu ebirungo okusikiriza abaguzi ne kyongera ku nfuna yaabwe.

Enzigizi n’amadirisa ebikoleddwa mu byuma ebigazi ebimanyiddwa nga ‘Door frame’ ne ‘Face board’ mwe basinga okukola dizayini eziriko.

Omukozi Ng'agezaako Okuteeka Dizayini Mu Madirisa

Omukozi Ng'agezaako Okuteeka Dizayini Mu Madirisa

Bino bibaako obugazi bwa yinsi ttaano n’ekitundu wabula ng’obunene bw’omubiri gwe gwawuka okuva ku milimeter emu, emu n’ekitundu okudda waggulu. Obunene bw’omubiri kwe kusinziira bbeeyi.

Wadde nga Door frame ze zaasooka okuyingira akatale, kati zibuutikiddwa Face board era nga ze zisinga okwettanirwa. Eyo ey’omubiri gwa milimeter emu n’ekitundu ng’obuwanvu zirina ffuuti 20, zitandikira ku 80,000/- okudda waggulu.

Ebyuma bya Face board ne Door frame enjawulo ebeera mu dizayini wabula ng’obugazi ne ssente z’oteekamu ziba ze zimu okusinziira ku bunene bw’omubiri. Enzigi oba amadirisa agakoleddwa mu byuma bino bisikiriza abuguzi okusinziira ku dizayini eba eteekeddwa munda wabula nga bisinga kunyumira ku kisenge ekya bbulooka eza yinsi mwenda ng’ogizimbye mu nkola eya kagongo naddala ku bazimba kalina.

Kitegeeza nti eddirisa erya ffuuti ttaano ku ttaano limalawo ‘Face board’ eya ffuuti 20 nga bwe liba likoleddwa mu dizayini ennungi nga kuliko obumooli (Roovers) ku katale olitunda 350,000/- okudda waggulu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});