Omusajja alina okweyisa atya ng’omukazi y’asinga ssente mu maka?
Nov 07, 2023
Ssenga Jolly Nsubuga Nazimuli, abuulirira abaagalana mu zooni ya Kazo Muganzirwazza 11 mu munisipaali y’e Nansana annyonnyola nti abasajja abawasaabakyala ababasingako erinnya n’essente nabo balina engeri gye balina okweyisaamu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Ssenga Jolly Nsubuga Nazimuli, abuulirira abaagalana mu zooni ya Kazo Muganzirwazza 11 mu munisipaali y’e Nansana annyonnyola nti abasajja abawasa
abakyala ababasingako erinnya n’essente nabo balina engeri gye balina okweyisaamu. Okugeza;
1. Omusajja olina okuyambako mukyala wo: Mu bufumbo ng’omukyala y’asinza ssente, omukyala ayinza okufaayo ku bintu bingi awaka omuli okuweerera abaana naye
omusajja tasaanidde kumulekerera, mukwasaganyize awamu.
2.Omusajja olina okusigala ng’oli musajja: Abasajja abamu abawasa abakyala ababasinga
ssente n’erinnya bekkakkanya awaka ne beefuula abatalina kye basobola kukola olwo omukyala ne yeetikka obuvunaanyizibwa bwonna awaka.
3.Abasajja abamu bwe bawasa abakyala abalina ssente babanyigiriza obutabaako kye bateesa awaka olw’okulowooza nti babayisaamu amaaso. Ng’abafumbo, mulina
okukwatagana.
No Comment