Celine ku kuyimba ayagala kugattako okuba munnamawulire

Nov 16, 2023

EMIKUTU gy'emitimbagano mingi egizze naddala egyo emigattabantu era singa gyongerwa okukozesebwa obulungi abantu basobola okugiganyulwamu.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Emmanuel Ssekaggo

EMIKUTU gy'emitimbagano mingi egizze naddala egyo emigattabantu era singa gyongerwa okukozesebwa obulungi abantu basobola okugiganyulwamu.

Ennaku zino abantu bakozesa emikutu gino okulaga ensi ebitone bye balina era bangi ne bafuna ababayigirako.

Kati ggwe omuzadde ali ku mikutu gino, bw'olaba omwana omuto aliko ng'alina ky'akola ekimuzimba n'okuzimba abalala, wanditunuulidde ku wuwo gw'olina awaka, ne weebuuza nti owuwo alina obukugu obukikola oba nedda.

 

Omu ku baana abakola ebintu eby'enjawulo ku mitimbagano ye Celine Shivan Nalubega, asomera ku Multiple Junior School e Lugazi mu disitulikiti ye Buikwe.

Nalubega muyimbi era alina ennyimba okuli Ndi Musana, Leero luno, Maama n'endala ezaamala eddala okukwatibwa ku ntambi.

Ku kuyimba Nalubega agattako okuzina amazina ag'enjawulo wamu n'okwolesa emisono.

Ono ebitone bye asinga kubyoleseza ku Tik Tok era ng'alina abagoberezi abawera.

OKUGENDA KU MUTIMBAGANO

Okuva obuto Nalubega yayagalanga nnyo okuyimba n'okuzina. Olw'ekitone kino, muliraanwa nayagala okumussa ku mutimbagano wabula abazadde ne bagaana. Kyokka oluvannyuma bakkiriza.

Omulundi gwe yasooka okugenda ku Tik Tok mu 2020 yassaako ebintu ebyenjawulo by'ankola. Yafuna abagoberezi n'afuna n'abamukwatako.

Kino kyamusobozesa okwetaba Celine ng'ayolesa emisono. mu mpaka n'awangula n'engule mu 'Pulse Influencer Award' ng'omwana asinga okugobererwa ku Tik Tok ate n'okuteekayo ebinyuma ebizimba Bannayuganda.

OKUSOMA

"Newankubadde ng'enze nfuna erinnya, ebirooto byange sinnabituukako, njagala kubeera munnamawulire. Ebiseera by'okusoma siyingizaamu bya kuyimba. Ebyakatemba bya wiikendi. Engabanya y'obudde kikulu, kiyamba buli kintu okutambula obulungi.

MANEJA

Josephine Kaweesa Ceci maneja wa Celine agamba: Buli kintu ekijja mu nsi bwe kikozesebwa obulungi kisobola okubaako ebirungi bingi bye kireeta.

Okugeza omukutu nga Tik Tok abantu basobola okugweyambisa okufunira ddala ssente. Kye tulina okwegendereza kwe kukozesa emikutu mu ngeri eteri ntuufu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});