Abawala mwongere okwekolera
Dec 12, 2023
SSANYU: Leero Jesca Batamuliza ababuuzaako

NewVision Reporter
@NewVision
Nnyabo onoonsonyiwa okukwemanyiiza naye onfaananidde omuwala gwe nasomyeko mu katabo k’Abalungi . Simanyi ye ggwe?
Nedda nnyabo, nze sikubibwangako mu katabo konna.
Leero ofunye omukisa, ogenda kufulumirako mu lupapula lw’amawulire olusinga obunene mu Uganda. Mpa ku mannya go ne gy’obeera
Nze Jesca Batamuliza, mbeera Kisaasi.
Olagako wa? Toba ng’oli mu bwangu?
hhenda ku mirimu gyange.
Ofaayo bw’ombuulira ku mirimu gy’okola?
Nnina bizinensi zange ze ntambuza mpola mpola.
Ky’ogamba omwana wa bandi yasalawo n’akussaamu ssente eza bizinensi?
Ekkubo ly’okutte kyamu.
Ky’ogamba toli mufumbo?
Siri mufumbo n’ebyomukwano nabiwummulamuko.
Yiiiiii... ky’ogamba bwe wabaayo alina ‘CV’ ewera tomwanukula?
Ye ng’eky’abasajja okiremeddeko? Waliwo eyakusindise okumbega.
Twogeramu bwogezi era nandyagadde mmanye ekikula ky’omusajja gwe yandyetaaze
ng’ekiseera kyo eky’okuddamu okuganza kituuse
Njagala omusajja omulungi, anjagala nga bwendi era ng’atya Katonda.
Olwo ku musajja omuyimbi ne munnakatemba oyinza kutwalako aliwa?
Ntwala omuyimbi.
Ekitegeeza oyagala nnyo ennyimba okusinga katemba
Bwe kiri. Omusajja omuyimbi alina engeri gy’anyumisa omukwano ng’akuyimbiramu mu biseera byammwe eby’eddembe.
Mbadde ndowooza nti ne munnakatemba asobola kusanyusa ng’aleeta obugambo obusesa
Omuyimbi yagenda wala. Byonna by’akugamba abissa mu ddoboozi esseeneekerevu.
Kati muyimbi ki asinga okukucamula
King Saha ne Sheebah Karungi.
Buze ki obukunyiiza ku basajja abamu?
Omusajja akuba omukazi n’okumutulugunya saagalira ddala kumusemberera wadde.
Omubiri ogukuuma otya?
Sikyajjukira lwe nasemba kufuna situleesi kuba buli kigireeta nakyesonyiwa. Ngattako okukola dduyiro n’okunywa amazzi ate nga n’otulo, nneebakira ddala essaawa abasawo ze batulagira okuwummulamu wamma omubiri ne gwekola gwokka bye njagalira ddala.
Olina emyaka emeka?
Emyaka tugireke naye ggwe ky’oba omanya, nkyali kito.
Mukyala ki gwe weenyumirizaamu wano mu Uganda?
Flavia Tumusime, eyali omusomi w’amawulire.
Mpaayo ekintu kimu bawala banno kye bayinza okukuyigirako?
Ndi muwala eyeewa ekitiibwa, akkiririza mu Katonda ng’ate ndi mukyala mukozi.
Abawala mbakubiriza obuteweebuula ate beekolere akasente kaabwe
ez’abalala ze babasuubiza zinaabasangayo.
Kati nkoze ntya okuddamu okukulabako?
Nze simala galabikalabika ntyo era leero oli wa mukisa.
Kati ndekera akanamba k’essimu kwe naakufunira.
Awo okubye bbali kuba nayo sigigaba.
Mukama akukuume osanga ndiddamu okukusanga wano we nkusanze ne tuwayaamu
Kankusabire
No Comment