Owa Boda Boda agambibwa okunyakula akasawo k'omukazi n'amutiisatiisa n'ejjambiya ali Luzira
Jan 06, 2024
OMUGOBA wa Boda-Boda agambibwa okunyakula akasawo k'omukazi oluvannyuma n'amutiisatiisa n'ejjambiya okumutta aguddwaako gwa bwa kkondo, kkooti e Mengo emusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga February 20, 2024 lw'anaddamu okulabikako mu maaso g'omulamuzi.
By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision
OMUGOBA wa Boda-Boda agambibwa okunyakula akasawo k'omukazi oluvannyuma n'amutiisatiisa n'ejjambiya okumutta aguddwaako gwa bwa kkondo, kkooti e Mengo emusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga February 20, 2024 lw'anaddamu okulabikako mu maaso g'omulamuzi.
Didas Minaani 28, wa Boda-Boda nga mutuuze w'e Namungoona mu Lubaga y'asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo amusomedde ogwa kkondo ekikontana n'obuwaayiro 285 ne 286(2) mu ssemateeka.
Kigambibwa nti nga December 15, 2023 e Lungujja zzooni VIII, Minaani eyali atambulira ku Boda-Boda n'abalala abatannakwatibwa, yanyagulula Maria Gorret Nanziri akasawo ke ak'omungalo omwali emitwalo esatu, Densite bbiri, ppamiti, essimu ekika kya Techno Camon 19, n'ebirala nga byonna bibalirirwamu emitwalo 950,000 wabula nga mu kukola kino yeeyambisa ejjambiya okumutiisatiisa okumutta n'akuliita n'ebibye.
Oluvannyuma lw'okumusomera, omulamuzi Byarugaba yamugaanyi okubaako ne ky'oyogera nti omusango ogumuvunaanibwa gwa naggomola nga kkooti ye terina buyinza buguwulira era n'amusindika ku limanda okutuusa oludda oluwaabi bwe naakungaanya obujulizi bwonna obumusindika mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba nagwo.
Related Articles
No Comment