Eyasinze banne ku Namungoona High abadde asiika chapati okwebeezaawo

Mar 07, 2024

LIBADDE ssanyu na kusagambiza ku ssomero lya Namungoona High School omuyizi James Ssebuufu eyasangidwa nga yakola omudaala gwa chapati okwebezaawo bw'asinze bane n'obubonero 19.

NewVision Reporter
@NewVision

LIBADDE ssanyu na kusagambiza ku ssomero lya Namungoona High School omuyizi James Ssebuufu eyasangidwa nga yakola omudaala gwa chapati okwebezaawo bw'asinze bane n'obubonero 19.

Ssebuufu essanyu libuze okumutta omutandiisi w'essomero lino bw'azze ku mudaala gwe waabadde asiikira chapati n'amuwa amawulire ag'okuba nti y'asinze banne era ono amangu ddala agenze ku ssomero gy'asanze banne nga baamulindiridde dda ne bamuwanika mubire.

Abaana nga basitudde Ssebuufu

Abaana nga basitudde Ssebuufu

Ono ategeezeeza nti kibadde kisa kya Mukama okufuna obubonero buno kubanga asomedde ku bugubi olw'okubulwa ebisale by'essomero ng'ebiseera ebisinga babadde nga bamugoba kyokka ne yeerwanako era n'ategeeza nti ayagala kubeera musawo.

Omutandiisi w'essomero lino Ronald Ssemaganda yategeezezza nti baatuuza abayizi 57 era bonna baayise nga eyasinze yafunye obubonero 19 n'addirirwa abasaayansa 2; okwabadde Rose Katiiti ne Ahmed Lugemwa nga bonna baafunye 18.

Ssemaganda ategeezezza nti obumalirivu bw'abasomesa be n'okwagala kwe balina eri abayizi bye bimu ku byabayambye okulaba nga bayisa abayizi baabwe.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});