Amawulire

Eyaliko RDC w'e Jinja alaajanidde Pulezidenti okumutaasa mu mbeera embi gy'alimu

Sakwa ategeezezza nti buli kimu kye yali alina yakitunda okusobola okasasula balooya abaamuyamba okumuwolereza ku musango gwe baali bamutaddeko

Eyaliko RDC w'e Jinja alaajanidde Pulezidenti okumutaasa mu mbeera embi gy'alimu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

EYALIKO omubaka wa gavumenti e Jinja, Erick Sakwa, alaajanidde Pulezidenti okumudduukirira ku mbeera gy'alimu gy'agamba nti emuyinze obuzito.

Sakwa ategeezezza nti buli kimu kye yali alina yakitunda okusobola okasasula balooya abaamuyamba okumuwolereza ku musango gwe baali bamutaddeko ogw'okukuba n'atta omuntu mu biseera bya Covid e Jinja.

Sakwa Bw'afaanana Kati.

Sakwa Bw'afaanana Kati.

Annyonnyodde nti omusango guno baagumujwetekako era abantu abaali bamulwanyisa e Jinja be baakikola olw'amaanyi ge yakozesanga okulwanyisa ekibbattaka, enguzi n'obulyake mu kiseera ekyo.

Sakwa abadde ayogeza ennaku n'obweralikirivu, agambye nti aludde ekiseera ng'awandiikira Pulezidenti amabaluwa ng'asaba amusisinkane, naye tafunanga kuddibwamu.

Sakwa era awadde Bannayuganda amagezi okwewala okukomyawo bannabyabufuzi abali b'enguzi n'abalyake mu kulonda okuddako.

Tags:
Eric Sakwa
RDC
Omubaka wa pulezidenti
Byabufuzi
Jinja