Buubuno obujjanjabi obusookerwako ng'ensiri ekulumye

Mar 25, 2024

Era ensiri zino tezisobola kubiika nga teziyonse ku musaayi. Emibiri gy’abantu gyanukula mu ngeri ya njawulo nga girumiddwa ensiri.

NewVision Reporter
@NewVision

ENSIRI kye kimu ku biwuka ebisinga okutawaanya omwana w’omuntu. Abakugu mu byobulamu bagamba nti ensiri enkazi ze ziruma abantu nga zinoonya emmere ey’omusaayi.

Era ensiri zino tezisobola kubiika nga teziyonse ku musaayi. Emibiri gy’abantu gyanukula mu ngeri ya njawulo nga girumiddwa ensiri.

Omukono Gw'omwana Ogulumiddwa Ensiri.

Omukono Gw'omwana Ogulumiddwa Ensiri.

Abamu tebalina kye baba ate abalala bayisibwa bubi, ne bafuna okusiiyibwa, obutulututtu, n’okulunguula, ssinga ensiri efumita omumwa gwayo mu mibiri gyabwe.

Okusinziira ku mukutu gwa https://www.cdc.gov, abaana abato, n’abantu abakulu abalumiddwa ekika ky’ensiri ekitabalumangako, be basinga okukosebwa ennyo.

Singa ensiri zikuluma ne zikuleetera okuzimba n’okusiiyibwa, kola bino wammanga osobole okufuna ku buweerero.

Naaza ensiri we yakulumye, ng’okozesa ssabbuuni n’amazzi amayonjo.

Funa bbalaafu omuzinge mu kagoye, oteeke ku mubiri gwo mu kifo ensiri we yakulumye, okumala eddakiika nga 10. Kino kikuyamba okukendeeza ku kusiiyibwa, n’omubiri okweyongera okuzimba.

 

Bw’oba olina ekirungo kya Soda bi-carbonate, ekikozesebwa mu kukola ebyokulya eby’engano, kitabule mu mazzi, osiigewo, kikuwonye okusiiyibwa.

Togezaako kutakula mu kifo ensiri w’ekulumye, kubanga ojja kusajjula obuvune n’obulumi. Bw’oba oliraanye awali eddwaliro, gendayo bakuwe ku ddagala erisinga amaanyi, ssinga okusiiyibwa n’obulumi bigaana okugenda.

Naye ekisinga obukulu kwe kwebaka mu katimba k’ensiri, zireme kukuluma.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});