Ab'e ssembabule balumbye Poliisi lwakugaana kwetaba mu lukiiko lwa byakwerinda

Noah Kintu
Journalist @Bukedde
Apr 04, 2024

ABATUUZE b'okukyalo Kikoma ekisangibwa mu gombolola y'eMabindo mu disitirikiti y'eSembabule bavudde mu mbeera ne balumba poliisi post ye kitundu ekyo olw'okugaana okujja mu lukiiko lw'ebyokwerinda lwebabadde batuuziza mu ka tawuni ke kikoma.

Bano nga basoose kutuula mu lukiiko nga b'emulugunya ku poliisi okw'ekobaana ne bebayise ababbi n'ebababbira ebintu byabwe kyoka bwe basazeewo okutuuza olukiiko poliisi ebannyonnyole lwaki obubbi bususse mu kitundu egaanye okuja olwo nabo kwekuva mu mbeera n'ebagirumba era n'ebagumbawo nga baagala akulira poliisi post eyo Otunga Richard ababuulire lwaki tazze mu lukiiko lwabwe.

 
Sentebe w'ekyalo Kikoma  Kyeyune Pascal yasoose kutegeeza batuuze nga poliisi bweyamugambye nga bwetagenda kubeerawo nti kuba bbo bakyusidwa okuva ku poliisi eyo.
 
Namanda Magret, Kagolo Henery kwosa ne Simon sebbowa beekumyemu okugutaaka n'ebakunga abatuuze okukakkana nga balumbye poliisi wabula oluvannyuma Otunga Richard apondoose n'akkiriza okugenda mu lukiiko era alabiddwako nga alinnya boda okugendayo.
 
Sipiika w'egombolola Mabindo Kamya Stephen Kibudiya agambye nti yakubwa encukwe nga afunye amawulire nti waliwo ebintu ebimu nga emmotoka ebyabbibwa ku poliisi wennyini era bwebaleeta embwa ekonga olusu n'egukira ku mulyango gw'omusirikale.
 
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});