Hadijah Namyalo awadde abayizi eby'okusiibulukuka n'abalabula ku kawuka ka Mukenenya
AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM Hajjat Hadijah Namyalo awadde abayizi ba matendekero agawaggulu amagezi okusooka okufaayo ku misomo gyabwe naddala abawala nga tebanalabankana na basajja kubanga ssaawa yonna bajja ku basanga.
Hadijah Namyalo ng'awa abantu abayizi eby'okusiibuluka
“Ba nnyabo ne ba ssebo abayizi baffe mu kimanye nti mu kiseera kino ekigendererwa kyamwe ekikulu kusoma so si bya kwegatta kubanga ebyo ssaawa yonna entuufu mujja kubisanga ate mu bikoowe” Namyalo bweyategeezezza.
Hadijah Namyalo ng'atuuka ku ssomero
Bino Namyalo yabyogeredde ku ttendekero lya Excel Vocational Training Centre e Kalule - Bombo bweyabadde abatwalidde ebyokusibulukuka ku Lwokubiri
Namyalo yalabudde abayizi abawala n’a balenzi nti siriimu gy’ali era akyatta era nga balina okuviira ddala ku byokwegadanga okutuusa nga bamaze okusoma.
No Comment