Omutaka Nsamba ow'e Ngabi bamusengudde ku kibanja kw'amaze emyaka 30 amaka ne bagasibako ekibaati
Apr 16, 2024
EBIZIBU nga bwe bitamanya nnyumba mbi, eby'Omutaka Nsamba byeyongedde okwonooneka, nga kkooti ya Kisekwa e Mengo esulirira okusala omusango ogw'amuwawaabirwa ogw'okulya ensowole ate bamugobye mu nnyumba mw'amaze emyaka egisukka mu 30.
By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision
EBIZIBU nga bwe bitamanya nnyumba mbi, eby'Omutaka Nsamba byeyongedde okwonooneka, nga kkooti ya Kisekwa e Mengo esulirira okusala omusango ogw'amuwawaabirwa ogw'okulya ensowole ate bamugobye mu nnyumba mw'amaze emyaka egisukka mu 30.
Omutaka w'ekika ky'e Ngabi Ssaalongo Aloysius Magandaazi okutuuka okumugoba mu nnyumba n'ekibanja ebisangibwa e Mutundwe mu Kigagga zzooni mu Lubaga, kiddiride okumuyisaako ekiragiro kya kkooti ekimusindiikiriza okubyamuka mu bunnambiro oluvanyuma lw'okusingisibwa ogw'okusaalimbira ku kibanja.
Okusinziira ku kiwandiiko Bukedde kye yalabyeko okuva mu kkooti enkulu ekyakolebwa nga November 22, 2012, kyawandiikirwa eri wannyondo wa kkooti Fredrick Mpikiro nga kiragira Magandaazi okwamuka ekibanja okuddizibwa bannanyi kyo, Rosemary Nayiga, Tereza Natale ne Stephen Masengere abaamuwawaabira ne gumukka mu vvi.
Ennyumba y'omtuka eteekeddwako ekibaati
Poliisi okuva e Nateete ng'ekulembeddwamu agiduumira Hassan Ssekalema yayungudde basajja baayo abasoba mu 15 ne wannyondo Mpikiro gye baasanze ne Ssentebe w'ekitundu Paul Walakira abaasazeeko amaka ga Magandaazi okutuukiriza ekiragiro kya kkooti era baalesse ebintu byonna bifulumiziddwa wabweru nga n'ekibanja kyonna kyetoolozeddwako ebibaati.
Eno baasanzeeyo mukyala we Jane Nandongo eyabadde mu nnimiro ng'akoola Kasooli ne bawala be babiri ne babalagira okulekera okulima wabula okuyingira ennyumba okuggyayo ebyabwe kw'ossa n'okulagira abapangisa okusibamu ebyanguwa kuba obwannanyi bw'abadde bukyuse.
Waasoose kubeerawo kuwanyisiganya bigambo wakati w'enjuyi bbiri ng'omukyala asaba wannyondo ekiragiro kya kkooti nga n'abaana bongereza okwo wabula oluvannyuma kyabalagiddwa era ne batandika okufulumya ebyabwe wakati mu kulangira n'okukukkulumira ababagoba mu kibanja nti nabo tebaggya ku kibeeramu nga babakwasizza omutonzi w'eggulu n'ensi.
Magandaazi okutuuka ku bino, kyaddirira abaana b’omugenzi Edward Kasozi okuli Tereeza Nantale kati mugenzi, Rosemary Nayiga ne Stephen Masengere okwekubira enduulu mu kkooti mu 2004 nga bamulumiriza okwesenza ku ttaka lyabwe mu ngeri emenya amateeka kwossa n’okuboononera ebintu byonna ebyaliriko mu kiseera we yasengerako mu 1993.
Nayiga 70, omwana omukulu mu maka ga Kasozi yategeezezza nti, Magandaazi olw’okuba mwana w’eyali Nsamba Joseph Kamoga, yagukozesa ng’omukisa n’atwala ettaka lyabwe mu ngeri y’okujukujju.
Ennyumba y'omutaka w'Engabi nga bagissaako ekibaati
Nayiga yannyonnyodde nti, ono yamusaba ng’omwana okulimirako ennyaanya naye ekyaddirira yatandika okukubirako amatoffaali wamu n’okumenya ennyumba ya kitaabwe, yabakolako effujo omwali n’okusaawa ebitooke ekyaddako kwali ku mutwala mu kkooti eyagumusingisa n’alagirwa okwamuka ekibanja kyabwe.
Omutaka Nsamba yategeezezza nti embeera etuuse ku kibanja kye ya bubbi kubanga waliwo ekiragiro kya kkooti ekimulagira okusigalawo nga basinziira ku musango ab'Amasiga 20 gwe baatwala mu kkooti gwe yasala nti abeerewo.
Yakukukkulidde omuduumizi wa Poliisi eyabaddwo ng'ateekese ekiragiro ky'okumusengula ye kye yagambye nti ki kyamu ate ng'akimanyi bulungi nti ateekeddwa okubeerawo.
Yagambye nti baakwongera okuzuula byonna ebyasoba okulaba ng'addamu okufuna obwannanyi ku kibanja kye kubanga n'abamuvunaana ettaka si lyabwe era naye si lirye nga Magandaazi.
No Comment