Omusajja alumbye muganzi we gyeyanobera mu muzigo n'amutemaatema n'amutta!

Florence Tumupende
Journalist @Bukedde
May 07, 2024

SSEMAKA  yalumbye muganzi we gyeyanobera mu muzigo n'amutematema ebiso ebimuttidewo lyo ebbujje lyeyamuzaalamu  n'alibuzaawo.

Ekikangabwa kigudde ku kyalo Byuma Zone mu tawuni kanso ye Kyazanga mu disitulikiti ey’elwengo ssemaka Kiyimba Elikaadi ow'emyaka 35 bwasanjaze muganziwe Tukayirwe Stella ow’emyaka 28  ebiso ebimutiddewo..

Omugenzi Tukayirwe abadde yaakanoba ewabba Kiymba nnasalawo yepangisize akazigo ng’eno gyamulumbye n'amuttirayo ebijjambiyo.

Abaana ba landiloodi  Nasuuna Kamidah omugenzi wabadde apangisa ettemu lino balinnyumya nga lutabaalo olw’omusajja eyamaze okuttemu neyewaana.

Bano batulaze nnyabwe engeri omutemu gyeyamukubye oluyi lwejjambiya lwebagambye nti lwelwamuvirideko okuziba omumwa olw’entiisa gye yalabye nga batta omuntu mumaaso ge.

 Batulaze omuzigo omugenzi kwabadde asula ng’eno gyeyadduse okuyingira munnyuma y’omukadde asobole okutaasa obulamu ekitaasobose.

Aba Famire nga bakungubaga

Aba Famire nga bakungubaga

Bano era basabye poliisi okubataasa ku bavubuka abasuse okukozesa ebilagalalagala ebivudeko obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Omukwate akakasiza nga bweyasse mukaziwe gwagambye nti abadde asusizza okumusabanga ssente nga bwaziwa abasajjabwe ate bwetumubuuzizza ekyomwana abadde abeera n’omugenzi nagamba nga bweyamututte ewajjajjawe.

Ssentabe w’ekyalo kino Kabadeebe Moses   N'abatuuzebe avumiridde banannyini mayumba abatanjula bapangisa babwe mu LC kuba omugenzi abadde tamumanyi mukitundu  era nasaba poliisi okubataasa ku bavubuka abakozesa ebiragalalagala.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Twaha Kasirye akasiza okuttibwa kw’omugenzi era nakakasa nga omutemu bwali mu mikono gya poliisi bwatyo navumirira abafumbo okukomya okusalirangawo mu busungu..

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});