Agafa ku bidduka ; Obubonero 4 kw'omanyira ebigulu by'emmotoka ebirina obuzibu
Jul 30, 2024
EBIGULU by'emmotoka bye biyamba emmotoka okutambula obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
Derick Lubuulwa, makanika ku Bulaga Motor Garage esangibwa e Bulaga ku lw'e Mityana ategeezezza nti waliwo ebintu ebyenjawulo ebivaako ebigulu by'emmotoka okwonooneka okuli:
1. Emmotoka okugivugira mu makubo agalimu amazzi.
2. Okuvugira emmotoka mu makubo agalimu ebiyinji ebivaako okuyuza ‘Rubber Boots' ne zitandika okuyingiza amazzi.
3. Oluusi makanika ayinza okuzoonoona singa azikwata bubi.
Makanika Ng'atereeza Ebigulu by'emu ku mmotoka eziri mu ggalagi.
Kw'olabira ebirina ebizibu
--Bw'ogisimbula oyinza okuwulira nga yeemeketa.
-- Bw'oba ovuga n'owulira nga waliyo ekyekulula wansi kitera kuba kigulu kya mmotoka.
--Buli lw'oteekamu ggiya n'owulira ng'erimu ekikoona weekebejje ebigulu.
--Bw'oba ovuga n'oggyako ku muliro n'owulira nga waliwo ekyemeketa era bibeera byonoonese.
Ssinga ebigulu bifuna ebizibu osobola okufuna ebipya oba okukanikibwa wabula nga kino kisinziira ku kitundu ekyonoonese. Rubber boot bwe ziba ze zoonoonese ze baggyako ne bateekako ennamu, wabula bw'eba ekutuse mutayimbwa oba olina kugula mpya.
No Comment