ABATUUSA ebidduka mu ggwanga bongedde okuleeta emmotoka eziba zikoleddwa mu myaka gino okusinga ezo ezaakolebwa mu myaka egy’edda.
Bw’otuuka mu bbondi ezituusa mmotoka mu ggwanga weesanga nga balina emmotoka ezaakolebwa omwaka oguwedde (2023) nga baazireeta kuno nga zikozeko.

Makanika Nga Yeekebejja Mmotoka Empya.
Wadde nga mmotoka zino zivudde mw’ezo enkadde ezitutte ekiseera ku kkubo, ezimu zongeddwaamu ebirungi bingi.
Wabula Badru Mwanje, nga makanika wa mmotoka e Nakawa, agamba nti, mmotoka gye zikomye obubeera empya gye zikomye okubeera ez’ebbeeyi okuyimirizaawo olwa tekinologiya omupya ateereddwaamu.
“Mmotoka enkola empya tezikyanywa woyiro oba ‘Hydraulic’ ebyabulijjo ebya ssente entono. Okukola saaviisi ya mmotoka empya ekutwalako ssente ezisukka mu 500,000/-,” Mwanje bwe yagambye.
Agamba nti, wadde amafuta ga mmotoka gasuubirwa okubeera ku mutindo, waliwo amasundiro agatunda ago agayinza okucankalanya ebika bya mmotoka ebipya.