EBY’ABAKOZI tebiggwa malojja. Abamu obwesimbu tebakyalina wadde ssente bazaagala.
Annet Kajumba, omutuuze w’omu Ndeeba agamba abadde amaze ebbanga nga yeesonyiwa abakozi ng’abaana yabateeka mu bisulo.
Naye gye buvuddeko yafuna akalimu ng'alina okuva awaka n’asalawo addemu egezeeko ku bakozi ng'abeera awaka nga bw'akola ne mu dduuka.

Kajumba Bw'afaanana.
"Nnasaba owooluganda annoonyeze omukozi mu kyalo, nga ndowooza abeeyo bakyalina ku mpisa n’obuntubulamu. Bwe yamufuna n'amundeetera. Yasooka kukola bulungi mu wiiki esooka oluvannyuma n'akyuka.
Nga takyayagala kumugolola nsobi z'akoze oba okumulagirira engeri ebintu bwe bisaanye okukolebwa. Ng'awuliriza mwami wange yekka. Kale ne nsalawo okwekolera bye nsanga nga tebiteredde nga ng'amba kasita ankuumira awaka n'edduuka.
Yafuna omuvubuka amuganza nga bwe nsimbula awaka nga naye agenda ewa muganzi we, baliraanwa bwe bang'amba oluvannyuma. Nga bamulaba agulira mulenzi birabo oluusi ng’akwata eby’omu dduuka nga amakulooni n’afumbira muganzi we n'amutwalira.
Ng'enda okulaba nga ssente zikendeera mu dduuka, bwe nabeerangawo nga nkola okuva ku 50,000/ n'okweyongerayo olunaku, wabula okuva bwe yatandika okukola mu dduuka nga tasussa 8,000/-.
Nasooka kulowooza ndowooza abantu tebamumanyidde era tebakyama. Wabula nagenda okulaba ng'ebintu bikendeera mu dduuka ate nga ne ssente siziraba.
Nnakubira eyamundabira essimu ne mmusaba ajje awaka alabe ekiriwo. Ekirungi yali waaluganda lwange, naye olwatuuka yeewuunya edduuka lyange nga lyonna kumpi liweddewo.
Buli kiseera ng'agula ngoye na ngatto n’agula n’essimu empya mu kaseera akatono ke yamala ewange nga sinnamusasula na musaala. Eyamumpa yamukwenyakwenya n'amulimba nga mu kyalo bwe waliyo ebimwetaagisa n'amutwala. Yamutegeereza eyo nti mugobye.