Obadde okimanyi nti emmwaanyi zigoba omugejjo? Emigaso gyazo giigino

Mar 15, 2025

EMMWAANYI kye kimu ku birime ekimaze ebbanga nga kirimibwa mu ggwanga lya Uganda era nga kirina emigaso egy’enjawulo omuli okujjanjaba wamu n’okuziyiza endwadde.

NewVision Reporter
@NewVision

EMMWAANYI kye kimu ku birime ekimaze ebbanga nga kirimibwa mu ggwanga lya Uganda era nga kirina emigaso egy’enjawulo omuli okujjanjaba wamu n’okuziyiza endwadde.

Omukugu mu kunoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi ku yunivasite e Makerere Polof. Esezah Kakudidi, agamba nti, ebbanga liyise ng’abantu balina amawulire agatali matuufu ku mmwaanyi nti, zireeta obulwadde lwa puleesa kyokka okusinziira ku kunoonyereza okw’enjawulo okukoleddwa, kizuuliddwa nti, ekyo si kituufu.

 

ENDWADDE EZIVUMULWA N’OKUTANGIRWA EMMWAANYI
Polof. Kakudidi agamba nti :
Emmwaanyi ziwonya endwadde nnyingi ate n’okuzitangira obutakukwata singa oba oziridde, ng’ozinywedde nga kaawa ate n’okunywa ebikoola byazo. Mu zino kuliko: 

1 Okusannyalala: Emmwaanyi ziziyiza endwadde y’okusannyalala era abanoonyereza bakizudde nti, abanywi ba kaawa, balina emikisa ebitundu 20 ku buli 100 obutakwatibwa endwadde y'okusannyalala. 

2 Okukuuma omutima nga mulamu : Abantu bangi balumbibwa endwadde z’omutima kyokka abanywa emmwaanyi tebamala galumbibwa ndwadde zino.

3.Okuziyiza obulwadde bwa sukaali : Bw’onywa emmwaanyi okuumibwa ebitundu 50 ku buli 100 ku sukaali ono. 

4 Okuziyiza endwadde y’okwerabira : Mu biseera ng’abantu bagenze bakula mu myaka mulimu abafuna ekizibu ky’okwerabira. 

5. Abanoonyereza bakikakasa nga emmwaanyi ziyamba ku basajja obutavumbeera mu nsonga z’ekikulu.

 Okuleeta amaanyi mu mubiri: Singa owulira ng’olina obunafu mu mubiri, nywaayo ebikopo bya kaawa nga bibiri  oba bisatu ojja kufuna amaanyi.

 Emmwaanyi ekuyamba okukolera ebbanga eddene nga tosumagidde. 

 Obutakaddiwa : Abanoonyereza era bakizudde nti, bw’oyongera omutindo ku mmwaanyi n’ozikolamu ebizigo, zisobola okugoba enkanyanya era n’otalaga myaka gyo.

5 Okuziyiza omugejjo: Mu ngeri y’emu okunywa emmwaanyi kuziyiza omugejjo kubanga zitambuza bulungi omusaayi wamu n’omubiri okuba nga gwesobola. Kino zikikola ebitundu 12 ku 100. Olw’okuba emmwaanyi zikuyamba
ne zikukuuma ng’okola emirimu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});