“ENSANGI zino omulimi yenna okusobola okufuna amakungula amalungi, talina kwewala kufuuyira. Kino kivudde ku mbeera nti, obuwuka obutawaanya ebirime wamu n’endwadde ez’enjawulo byeyongedde, ng’okusobola okubirwanyisa olina okwettanira okufuuyira.
Kyokka ng’okola kino, olina okukakasa ng’eddagala ly’okozesa terigenda kusaanyaawo bulamu bwo wamu n’obutonde bw’ensi”.

Namulindwa Ng'ateeka Ekikondo Ku Lusuku Lwe Lw'afuuyira N'eddagala Ly'akola Mu Butonde.
Mu kaweefube w’okukakasa nga Bannayuganda bakozesa eddagala ly’obutonde mu kufuuyira mu nnimirio zaabwe, aba Kulika Uganda nga bali wamu n’aba Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) bakoze eddagala erimanyiddwa nga ‘Kulika Natural Pesticide’ eritalina bulabe ku muntu ate nga litta n’okugoba obuwuka obw’obulabe eri ebirime by’abantu.
Kino kiva ku mbeera nga naye akimanyi nti, akozesa eddagala eritali ddungi eri obulamu bwe olwo n’alyoka agula eyo eyalimibwa mu nnima y’obutonde nga ye kwe yateeka eddagala ery’obulabe eri emmere wamu n’obulamu bw’abantu abalala atunda ntunde.
Awo nno ggwe omulimi ali eyo, wandibadde olima ng’okimanyi nti, emmere gy’olina naawe ogenda kugirya bw’otyo n’ogiteekako eddagala lye weekakasa nti, ddala lya butonde eritagenda kukosa bulamu bwo.
Eddagala lino erya ‘Kulika Natural Pesticide’ likoleddwa nga liva mu bimera ebyaffe ebya wano era nga tukozesezza amagezi ag’ekikugu nga tulivumbula, era ligezeseddwa ekimala ku mitendera egy’enjawulo ne tukakasa nga likolera ddala bulungi era nga n’abakugu bakakasiza kino.
Mu ngeri y’emu eddagala lino likola ku birime byonna omuli ebya sizoni n’ebyo ebiwangaazi.
Terikoma okwo likola nnyo ne ku biwuka ebirumba ebibala gamba ng’emiyembe, amapeera, ebitaffeeri n’ebirala.
Ssinga oba olina ebibala ebifaanana bwebityo olina okubifuuyirako eddagala lino bisobole okusigala nga bya butonde ate nga n’obuwuka obugobye.
Olw’obukugu bwe tukozesezza nga tukola eddagala lino, lirina obusobozi okutta ebiwuka byonna omuli ebyo eby’eddiba eriweweera gamba ng’obusaanyi obw’enjawulo okugeza obulumba lumonde ate n’ebyo eby’eddiba eggumu gamba ng’ebiddugavu ebirya ebitooke n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.