EBINYAANYA, abantu abasinga babirya ne batamanya nti, birina emigaso mingi eri abasajja naddala nga byengedde olw’ekirungo bya Vitamiini A, C ne E, zinc, n’ebirala ebisangibwamu.
Omukugu mu kukola eddagala ery’ekinnansi Dr. Faridah Mbabazi okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI) e Wandegeya, agamba nti, buli musajja ateekeddwa okulya ebinyaanya okusobola okukuuma omubiri nga guli mu mbeera nnungi.
Ebinyaanya birina ebirungo ebya Vitamiini C, E ebiyamba okugoba situleesi mu mubiri gw’omusajja okusobola okukola emirimu gye mu bwangu.
Olw’ekirungo kya potassium ne Vitamiini C, ebiri mu binyaanya, bw’obirya biyamba mu ntambuza y’omusaayi ennungi ne gutuuka ku buli kitundu eky’omubiri gw’omusajja.
Ebinyaanya biyamba okukuuma n’okutondawo enkyukakyuka mu mubiri gw’omusajja olwa Zinc asangibwamu. Omusajja yenna okwongeza ku muwendo gwa ‘testosterone’ asaana okulya ebinyaanya bibiri (2) olunaku.
Biyamba okugogola emisuwa gy’omusajja n’asaza kimu. Ebinyaanya birimu ebirungo ebiyamba okukuuma enkwaso nga nnamu bulungi. Biyamba okuziyiza okuzimba kw’omubiri gw’omusajja n’akola bulungi emirimu gye.