CAROLYN Kalanzi, 40, yakola ensobi ku mulimu gye yali akola mu 2013 ne bamugoba. Yasalawo okutandika okwekozesa ng’alongoosa amaka g’abantu era yatandisa ssente 180,000/- ne yeerandiza mpola kati akozesa abakozi 30.
Kalanzi N'abamu Ku Bakozi Be.
Ye nnannyini kkampuni ya GGz Cleaning Services Ltd e Makerere ng’apangisibwa okulongoosa mu maka, ofiisi n’ebizimbe by’abantu.
Kalanzi agamba yakula yeegomba kukola mu banka era bwe yawanduka mu yunivasite oluvannyuma lwa ssente okubula ng’ali mu mwaka gwe ogwokubiri e Makerere, yafuna omulimu gw’okunoonyeza emigabo gya Stanbic Bank akatale nga buli mwezi asasulwa emitwalo 50.
Yaterekangako n’aweza 3,000,000/- n’addayo ku yunivasite n’akola dipulooma mu bya komputya. Yafuna omulimu omulala mu Excel Insurance Company ng’akola mu kitongole ky’ebyensimbi.
Omusajja Mu Kkampuni Ya Kalanzi Ng'alongoosa.
Lumu, ow’ebyensimbi yagenda mu luwummula ne bassa Kalanzi ku kutendekebwa okumala ennaku 2, n’amutuulirawo. Eyagenda mu luwummula bwe yadda baamufunira walala, Kalanzi n’asigala mu kifo ekyo.
Oluvannyuma lw’emyaka ebiri bakama be baamukuza wabula yali afunye n’ekirooto ng’ayagala kubeera avunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi. Era yasalawo okudda ku yunivasite n’asoma diguli mu by’embeera z’abakozi.
Mu 2011, ng’akyakola mu ofiisi, omuvubuka omu eyali abalongooseza we bakolera, yamutuukirira ng’afunyeemu obuzibu era ng’ayagala amuguze ekyuma kye ekimu, ku birongoosa.
Kalanzi Ng'annyonnyola.
Kalanzi yasooka n’agaana okukigula ng’alowooza nti omuvubuka yandiba ng’ekyuma abbye kibbe wabula yaleeta lisiiti kwe yakigulira era ne bamuwaamu ssente.
“Nasasula 180, 000/- okugula ekyuma ekyo naye oluvannyuma kye kyazaala bizinensi gye nkola kati,” Kalanzi bw’agamba. Oluvannyuma yakizuula nti omuvubuka ono eyali abalongooseza ofiisi, ng’akawungeezi agenda mu mayumba g’abantu nabo n’abalongooseza ne bamusasula era n’amusikiriza okuyingira omulimu.
Agamba nti okuva obuto bwe, ng’ayagala nnyo okutegeka ebintu, okubitonaatona n’okulongoosa ekyamwanguyiza okukkiriza ekirowoozo.
Ng’afunye ekyuma, yabuulirako mukwano gwe ku mulimu ku bizinensi gye yali ayingidde kyokka munne n’amusekerera kyokka ate oyo ye yennyini ye yamuwa omulimu ogwasooka okulongoosa ennyumba ye.
“Nayita omuvubuka eyanguza ekyuma n’ampa ku magezi era yang'amba nga tetunnasaba ssente ze tugenda kukolera, tusooke tulambule omulimu era oluvannyuma lw’okulambula twagukolera 250,000/-
Napangisa ekyuma Napangisa ekyuma ekirongoosa kapeti ku 50,000/- n’ebirongoosa ebirala ne mbigula ku 30,000/- Omuvubuka ne mmusasulako 30,000/.
Nasigaza amagoba ga 120,000/-. Ssente zonna ezaasooka nazitwala mu Kkanisa ng’ekiweebwayo ne nsaba Katonda okuwa bizinensi yange omukisa,” Kalanzi bw’agamba.
Okuva olwo bizinensi ezze ekula kati akwata kontulakiti za bizimbe ne bamuwa bukadde na bukadde n’abakozi aweza 30.