SHEILA Ahabwe nga tannatandika ssomero lisomesa kufumba, yasooka kukola ebintu eby’enjawulo naye nga tebimmuka.
Ebigwo bye yagwa ebiwera, yeerwanangako n’asituka era ku nkomerero yeezuula kwe kutandika essomero lya Vine Kitchen and Vine Culinary and Hospitality School eritendeka abafumbi nga kati alina abayizi 50, ng’akozesa n’abakozi abasoba mu 30.
Y’amyuka pulezidenti w’ekibiina ekigatta abafumbi mu Uganda ekya Uganda Professional Chefs Union (UPCU).
Ahabwe Bw'afaanana.
Awangudde engule z’enjawulo mu kufumba wano mu Uganda n’ebweru. Ng’asoma ku yunivasite, yatandika bizinensi ye esooka ey’okusuubula ebyokwewunda by’abakazi ng’abiguza banne.
Agamba nti yalina ensimbi 100,000/- n’afuna ekirowoozo ky’okutandika okusuubula era n’akwatagana ne ssenga we eyali asuubula ebyokwewunda by’abakyala okuva e China.
Yalinnyanga bbaasi okuva e Mbarara n’ajja e Kampala n’asuubula ebyokwewunda by’abakazi ku ssenga we, oluvannyuma kwe yagatta engatto n’ensawo ng’abiguza bayizi banne ku yunivasite n’okubitembeeya e Mbarara.
Mu 2008, yafuna omulimu mu United Nations (UN) ng’akolera mu disitulikiti y’e Isingiro. Oluvannyuma lw’omwaka yeegatta ku Epicenter era n’addayo ku yunivaasite n’asoma kkoosi ya Monitoring and Evaluation e Makerere.
Yaddamu era n’asoma ne dipulooma mu Project Planning and Management ku UMI. Oluvannyuma lw’okutikkirwa, Ahabwe yafuna omulimu ne Brand Active Company. Yakola nga bw’atunda n’ensawo z’abakyala mu kaduuka ke yali apangisizza mu Kampala.
Ahabwe (wakati) N'abayizi Be Yali Asomesa Okufumba
Bizinensi y’ensawo yagejja, yafuna ekirowoozo ky’okutandika okuzeetuusiza okuva e China. Kyokka bino byamwokya kuba ensawo yazisuubula bbeeyi okutuuka e Uganda nga zimusala kuba ye yagendanga mu kibuga Beijing nga za bbeeyi nga tannazibuka maaso nti e Guangzhou, ye wali ebya layisi.
Ensawo bwe zaamusala n’aziddukamu n’atandika okugezaako ku buli kye bamugamba nti kikola ate nayo n’akolerayo loosi.
Yasigala ayiriba era oluvannyuma lw’omwaka yasiba omutima n’addamu okugenda e China n’obukadde 15 era ku luno zaamulamira n’akola amaduuka abiri mu Kampala.
ATANDIKA ESSOMERO ERISOMESA OKUFUMBA
Ahabwe gye yakoma okugenda e China ng’asuubula, yeetegerezanga bwe baddukanyaamu bizinensi era n’ayagala emmere n’engeri gye baagiteekateeka okusikiriza abagirya. Mu 2016, yaggulawo ekirabo ky’emmere e Kulambiro.
Agamba yakola loosi n’atuuka nga bizinensi y’emmere agiwanda lulusu kuba yassaamu ssente nnyingi zonna ne zifa. Wabula agamba nti omuwanguzi tawanika, yaddamu n’afuna ekirowoozo ky’okugenda okusoma okufumba n’akiyitiramu mukwano gwe eyamuwagira.
Mu 2019, yatandika eby’okusoma okufumba mu ssomero erimu mu Kampala era yayita bulungi n’afuna n’omukisa okutwalibwa e Buyindi, okusomesa abayizi baayo. Baamuwa omulimu ng’omusomesa w’okufumba ku Gems Cambridge International School era mu myezi mitono yaggulawo essomero erirye erya Vine Cooking School.
Agamba nti yasalawo okutandika essomero, kubanga abayizi be yasomesanga baali banyumirwa nnyo by’abasomesa. Abazadde baayitanga ebbali ne bamusaba abasomesezeeko abaana baabwe ewuwe awaka. Kye yakola, yabapangisa ennyumba mwe bajjanga n’abasomesa bw’atyo n’atandika Vine Cooking School.
“Natandika n’abamu ku bayizi bange nga nkozesa ebintu byange ebya waka, abazadde nga bwe balagirira bannaabwe abalala nti nsomesa okufumba bwe ntyo ne nkula n’okutuuka kati,”Ahabwe bw’agamba. Essomero yaliwandiisizza mu mateeka era kati alinamu abayzi abali mu 50.
AGATTAKO OKUFUMBA KU MIKOLO
Agamba nti entandikwa y’essomero yali nnungi kyokka Covid 19 bwe yabalukawo ensi n’egenda ku muggalo, kyamukosaamu kyokka bwe baggulawo n’atandikira we yakoma. “Nafuna ekirowoozo ky’okutandika okusomesa abantu ku bwereere era nabeerangako n’abakyala abatakka wansi wa 500,” Ahabwe bw’agamba.
Abakazi be yasomesanga baamufunira emirimu ng’afumba ku mukolo okwali embaga, okwanjula n’emirala. Oluvannyuma lwa Covid, yafuna omulimu omulala n’atandika okukola n’ekitongole kya Directorate of Industrial (DIT) ng’akola ogw’okugolola ebibuuzo by’abayizi abasoma okufumba.
Yaddamu n’afuna ekirowoozo ky’okusoma era n’agenda ku UMI n’asoma diguli eyookusatu mu Education and Human Resource Development.
OKUSOOMOOZEBWA
Ahabwe, agamba asanze okusoomoozebwa kungi okutuuka w’ali kati omuli;
1. Agamba nti okusikiriza abantu okumukkiririzaamu si kyangu n’okuzimba erinnya si kyangu.
2. Emiwendo gy’emmere egikyukakyuka olumu gimuviirako okufiirizibwa.
3. Omulimu gw’okufumba ku mikolo gumwetaagisa okubaawo mu buntu ate nga n’ebirala by’addukanya ng’esomero nabyo biba bimwetaaga ate nga mulimu okukola ennyo n’okusitula ebizito.
4. Ng’oggyeeko okufuna obuzibu mu kutuukiriza bakasitoma bye beetaaga, waliwo n’embeera z’ebigwa bitalaze mu kufumba olumu olina okutambula mu kiro n’ebirala.
EBYOKUYIGA
Agamba nti mu kukola ensobi, yakola eziwera naddala ng’abuuka kw’eno bizinensi nga bw’adda mu ndala. Naye kikulu okulemerako, osobole okutuuka ku kirungi.
Ahabwe y'ani?