ABAYIZI b'essomero lya Namungoona High e Namungoona bali mu ssanyu oluvannyuma lw'okukola obulungi mu bigezo ebyakafulumizibwa ebya S4.
Bano beeriisizza nkuuli okusingira ddala mu ssomo lya Ssaayansi.
Bano basangiddwa n'alikulira Ronald Ssemaganda ku ssomero nga babinuka masejjere eyeebazizza abasomesa okusomesa obulungi ng’abayizi bonna abaatudde baayitidde mu ddaala lisooka.

Abamu ku bayizi abaayitidde waggulu mu Namungoona High School
Catherin Namatta yafunye English A, Mathematics A, History B, Geography A, Physics A, Biology A, Chemistry A, Entrepreneurship A, ne Project B, Hariat Nannyonga ye zonna yafunyemu A, okujjako essomo lya Project lyokka mwe yafunye B nga baayitidde mu ddaala lisooka.
Nannyonga ayagala kubeera Yinginiya ate Namatta aluubirira kubeera Musawo. Beenyumiriza mu bazadde baabwe okubaweerayo ebisale by’essomero ate n’abasomesa okukola obutaweera okubasomesa.