KCCA esabye abantu okukuuma obuyonjo n’okugoberera okulambika kw’abeebyobulamu, kitangiren okusaasaanya obulwadde bwa Ebola. Akulira KCCA, Hajati Sharifa Buzeki yagambye nti, abantu basaanidde okufaayo okukuuma obuyonjo mu maka gaabwe ne gye batambulira.
Yabakubirizza okunaaba mu ngalo kitangire okusaasaana omusujja, ekiddukano ne Ebola eyalangiriddwa nti mu ggwanga mw’ali nga yava Congo kuba abantu baayo batera okujja mu Kampala okusuubula. Yagambye nti, abantu tebasaanye kulinda KCCA kubalagira kweyonja wabula bo bennyini beeyonje kitangire
ebirwadde.
Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yagambye nti, abantu
ba Kampala balina okwekuuma Ebola nga bakola ebyalambikiddwa omuli; okunaaba mu ngalo n’amazziamayonjo ne ssabbuuni, obuteegwa mu bifuba, okwewala okukwata mu
ngalo, okwewala okuliraana atuuyanye n’ebirala. Ssentebe wa Masanafu Kinoonya,
Sepiriya Kabuuka yasabye KCCA okuzimba eddwaaliro mu muluka gwa Lubya kuba mu kiseera kino gwe gusingamu abantu naye tebalina we bajjanjabirwa nga balina kugenda mu ly’e Kawaala eryesudde.