Emboozi

Abaalondebwa ku bwaminisita ne bakoma ku munaabo

MU myaka 40 Pulezidenti Museveni gy’amaze mu buyinza, waliwo abantu abasoba mu 10 be yali alonze ku bwaminisita ne bakoma ku munaabo olw’ensonga ez’enjawulo.

Kakooza Mutale (ku kkono) owa Kalangala Action Plan.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MU myaka 40 Pulezidenti Museveni gy’amaze mu buyinza, waliwo abantu abasoba mu 10 be yali alonze ku bwaminisita ne bakoma ku munaabo olw’ensonga ez’enjawulo.
Ku mulundi guno abantu 4 be yabadde alonze okuli; Adonia Ayebare eyalondeddwa ku bwaminisita w’ensonga z’ebweru, Shartis Musherure minisita omubeezi owa microfinance, Calvin Echodu (minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru) ne Dr. Lawrence Muganga eyaweereddwa obwa minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda bakyatubidde oluvannyuma lw’obutalayizibwa ku Mmande, okutandika emirimu. Wabula bakyalina omukisa ssinga Pulezidenti Museveni abaddiramu nga bwe yakola ku bantu abamu abaali basuuliddwa ebbali. Kyokka ate ayinza okubaleka nga bwe kyali ku bantu 10 abazze balondebwa wabula ne batayita mu kasengejja ne basubwa obwaminisita.

Akakiiko ka Palamenti akasunsula abantu abalondeddwa Pulezidenti (Appointments Committee), kaali kayisizzaako baminisita basatu okuli Echodu, Ayebare ne Musherure oluvannyuma lw’okulaga ebbaluwa ze baawandiikira amawanga gye balina obutuuze, nga babasaba babusazeemu.
Wabula ye Muganga akakiiko kaamuwandula nga kagamba nti  obutafaananako na banne, ye alina obutuuze bwa mirundi esatu okuli obwa Uganda, Rwanda ne Canada era teyalaga bukakafu nti obutuuze bw’e Rwanda yabusazaamu. Kyokka ku Mmande baminisita bwe baabadde balayira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, akulira abakozi  ba Gavumenti era omuwandiisi wa kabineeti, Lucy Nakyobe yagambye nti baakoze lipooti ku bantu bano abana, ng’ali n’omuwabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka, era ne bagiwa PulezidentiMuseveni asalewo ekisembayo. Bano si be basoose okutuuka ku bizibu nga bino nga bamaze n’okugolola amasuuti g’obwa minisita. Bukedde akuleetedde abantu abalala abaakoma ku lusu lw’obwa minisita naye ne batabulya. Kyokka era waliwo abaawandulwa Palamenti, naye Pulezidenti Museveni n’abayiirawo omubiri.
ABAZZE BAKOMA KU MUNAABO
Al Hajj Nasser Ssebaggala. Eyaliko Meeya wa Kampala Ntege Ssebaggala, mu June wa 2011 Pulezidenti Museveni yamulonda okubeera Minisita owa guno na guli. Wabula bwe yatuuka mu kakiiko ka Palamenti akakakasa abantu Pulezidenti b’alonze, baamuwandula nga bagamba nti ebiwandiiko bye eby’obuyigirize byali bya lusuluuju. Ssebaggala n’okwatula ekifo kye, kye baali bamuwadde ekya ‘Minister Without Portfolio’, yasiitaana ng’olulimi luzitowa okukamala, ebigambo ne bimulema okugattulula, Palamenti n’emugoba, era bwatyo akabaga ke yali ategese okwekulisa okufuuka Minisita abaakaliko baakavaako nga batintima olw’ekiyongobero. Maj. Kakooza Mutale. Mu July wa 2001, Pulezidenti Museveni yateeka Maj. Roland Kakooza Mutale ku  lukalala lwa baminisita lwe yaweereza mu Palamenti. Wabula amawulire gano bwe gaagwa mu matu ga Bannayuganda, bannabyabufuzi ne bannakyewa, baasitula enfuufu ey’amaanyi nga bagamba nti yali yeenyigidde mu bikolwa eby’effujjo, ng’akolera wamu
n’akabinja ke aka Kalangala Action Plan, ke baali balumiriza okwenyigira mu ffujjo ery’amaanyi mu kalulu ka 2001.
Olw’embeera eno, Pulezidenti Museveni yawandiikira Palament bbaluwa nga July 20, 2001, n’awanduukulula erinnya lya Mutale, okusinziira ku kalaani wa Palamenti eyaliko ebiseera ebyo, Aeneas Tandekwire. Saleh Kamba. Mu June wa 2011, Pulezidenti Museveni yalonda Lt. Saleh Kamba ku bwa Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Bunyoro. Kamba yali mubaka wa Palamenti akiikirira Kibuku. Akakiiko ka Palament akasunsula bwe kaatuuka okusunsula, kaazuula ng’ebitabo bye byali bitono nnyo ku mulimu gwe baali bamuwadde era ne bamuwandula.
Kamba yeecwacwana ne yeekubira n’enduulu mu kkooti, kyokka kkooti n’egamba nti akakiiko ka Palamenti kalina obuyinza okugaana Kamba okubeera Minisita, era kkooti n’egaana okweyingiza mu ngeri Palamenti gy’ekolamu emirimu gyayo.
Hajji Muhammad Muyanja Mbabaali. Mbabaali eyali omubaka wa Bukoto South mu Palamenti, Pulezidenti Museveni yamulonda ku bwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bayinvesita mu 2011. Kyokka bwe baatuuka mu kakiiko ka Palamenti akasunsula, baamukanyuga ebbali nga bagamba nti y’omu ku “Banawoomerwa emboona”, ebitabo bye ne bigaana okuwera.
Mu kisanja kye kimu, kkooti era yasikambulayo Mbabaali mu Palamenti olw’obutaba na bitabo, n’asikirwa omugenzi Matiya Nsubuga Birekeraawo. Wabula mu 2016 Mbabaali yali amaze okwefubako n’atereeza ebitabo, era n’awangula ekifo ky’omubaka kyokka Pulezidenti teyaddamu kumulonda ku bwa Minisita. Margaret Mbeiza. Mu 2009, Pulezidenti Museveni yakola enkyukakyuka mu kabineeti, era omu ku bantu be yalonda ye Margaret Mbeiza Kisira eyali omubaka omukazi owa isitulikiti y’e Kaliro.
Mbeiza yalondebwa ku kifo kya minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gya Gavumenti mu ofiisi ya Pulezidenti. Ababaka ku kakiiko baawakanya Mbeiza nga bagamba nti alina obukosefu ku mutwe, era yajjanjabwako endwadde z’omutwe, ng’ayinza obutasobola kuweereza mu kifo ekyo. Oluvannyuma Pulezidenti yamulonda okubeera RDC w’e Mayuge mu 2012. James Kakooza. Kakooza nga ye mubaka w’abakadde mu Palamenti, era abadde omubaka mu Palamenti ya East Africa naye obwa Minisita bwamuyitako mu ngalo. Kakooza mu 2011, Pulezidenti yamulonda nga Minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako ekifo kye yalimu okuva mu 2009.
Wabula bwe yaddayo mu kakiiko okumukakasa, akakiiko bwe kateeka ebitabo bye ku minzaani, baalaba nga biwewuka nnyo, ate nga n’ebiriwo tebikwatagana bulungi ne bamugoba. Kakooza yagezaako okwekubira enduulu mu kkooti kyokka omusango ne gugobwa, era okuva olwo taddangamukulondebwa ku bwa Minisita, wadde ng’era abadde mubaka wa Palamenti ebbanga eryo lyonna.
Adrian Tibaleka. Mu June 2016, Adrian Tibaleka yalondebwa ku bwa minisita omubeezi
ow’abakadde n’abaliko obulemu. Wabula Palamenti yamusimbira ekkuuli ng’egamba nti ebitabo bye byali tebiwera kumufuula minisita wa ggwanga, kw’ossa okukaluubirizibwa mu kwanukula ebibuuzo bye baali bamubuuza, mu lulimi Olungereza. Tibaleka okusalawo kw’akakiiko kwamukola bubi, era n’agezaako okwewozaako nti alina obusobozi naye empalana z’ebyobufuzi ze zaamuleetera obuzibu. Kyokka bino byonna tebyamutaasa. Ismail Orot. Ono naye y’omu ku kakiiko be kaagaana mu June wa 2011. Pulezidenti Museveni yali amulonze okubeera Minisita omubeezi ow’ebyenguudo. Orot era ye yali omubaka wa Kanyum County mu disitulikiti y’e Kumi. Akakiiko keekwasa ensonga y’obuyigirize n’okukyusakyusa amannya. Wakati mu kumusunsula, akakiiko kaazuula amannya ag’enjawulo mu biwandiiko bye, okuli John Stephen Ikadorot, ne Ismael Orot. Mu kunnyonnyola, Orot agamba nti yasooka kuba Mukrisitaayo
nga ye John Stephen, kyokka mu 1983 bwe yakyuka n’adda mu Busiraamu yafuuka Ismael. Kyokka akakiiko kaagamba nti ono yalemererwa okuleeta ebiwandiiko ebiraga nti yakyusa amannya mu butongole.
ABALALA ABAAGAANIBWA
Ng’oggyeeko baminisita, waliwo n’omulangira George William Mawanda Chwa, muganda wa Ssekabaka Edward Mutesa II, eyalondebwa okubeera ssentebe w’akakiiko k’ettaka mu ggwanga aka Uganda Land Commission mu 1997, kyokka Palamenti n’emugaana ng’ababaka bagamba nti yali akaddiye nnyo ng’ebintu bijja kumuyitako olw’emyaka gye.
BAKUBYE TTOOCI MU BASUULIDDWA
Yusuf Sserunkuuma omusomesa w’ebyobufuzi era omunoonyereza, yagambye nti okulonda baminisita bano yali nsobi eyakolebwa, ate n’akakiiko ka Palamenti akakasaako abasatu nako kaali mu nsobi. Embeera gye balimu ey’okubeera n’obutuuze obw’emirundi ebiri, Sserunkuuma agamba nti abaakola ssemateeka baakiraba mangu nti tosobola kubeera mwesigwa mu ggwanga erimu ng’olina obutuuze
obulala.
Ate ye Ronald Egesa omutunuulizi w’ensonga z’ebyobufuzi yagambye nti Palamenti okukakasa Echodu, Ayebare ne Musherure ate n’egaana Muganga kyayongedde okulaga nti enafuye nnyo tekyalina makulu. Pulezidenti kye yakoze kye kyabadde kisinga kubanga bonna abana bali mu kitimba kye kimu. Egesa yannyonnyodde nti ensonga ziri bbiri eziyinza okuwaliriza akakiiko ka Palamenti okuyisa abantu abasatu ate ne kasuula Muganga. Esooka kwe kuba nga baalidde, oba nga bye bakola tebabitegeera. Ensonga zino zombi zongera kulaga bunafu bwa Palamenti

Bano baatuuyana bwe zikala okufuna obwaminisita

WALIWO abantu abaalondebwa ku bwaminisita wabula akakiiko ne kabagoba,  kyokka ne basimattuka ekyambe oluvannyuma lw’okwerwanako n’okwekubira enduulu eri Pulezidenti Museveni. Idah Erios Nantaba. Mu 2012, Nantaba yalondebwa ku bwa minisita omubeezi ow’ensonga z’ettaka. Wabula bwe yagenda okumusunsula mu kakiiko ka Palamenti, akakiiko kaamusimbira ekkuuli nga kagamba talina mpapula za buyigirize. Ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kyakakasa nti empapula ze ntuufu, kyokka bwe yaddayo akakiiko ne keekwasa ensonga endala ey’empisa ze okubeera ensiiwuufu. Olw’okumukaluubiriza, Nantaba yagenda mu mawulire n’atabukira akakiiko ng’akalumiriza nti kakozesebwa ababbi b’ettaka ab’omutawaana be yali alwanyisizza n’abaanika mu disitulikiti y’e Kayunga. Bino byayongera kunyiiza kakiiko ne kagaanira ddala okumukakasa, okutuusa Pulezidenti Museveni bwe yabiyingiramu, akakiiko ne kamukakasa ng’amaze okukeetondera. Akakiiko kaamukakasa nga October 23, 2012 oluvannyuma lw’emyezi ebiri nga battunka. Alice Kaboyo. Mu 2021, Kaboyo
naye yayita mu ttanuulu okufuuka minisita omubeezi ow’akanyigo k’e Luweero ne Rwenzori.
Pulezidenti bwe yamulonda, akakiiko kaamugoba nga kagamba nti yasingisibwa omusango gw’obuli bw’enguzi, ate amateeka agafuga abakozi ba Gavumenti
gatangira omuntu okufuna ofiisi ya Gavumenti okumala ebbanga lya myaka 10 ssinga omusango guba gumusinze.
Bwe baabalamu, Kaboyo yali yaakamala emyaka mwenda ku katebe, ne bagamba engeri gy’atannaweza myaka 10 agira alinda. Wabula Pulezidenti Museveni yawandiikira akakiiko ebbaluwa ng’akasaba okuddamu okwetegereza ensonga za
Kaboyo, kubanga yali yategeera ensobi ye era ne yeenenya, ate n’awa n’engassi eyamusalirwa, ng’okumulemesa okuweereza mu Gavumenti baba bamwongedde
ekibonerezo ekyokubiri. Akakiiko bwe kaddamu okutuula kaamuyisa n’afuuka minisita. Harriet Ntabazi. Ntabazi yalondebwa mu June 2016 nga minisita omubeezi ow’ebyamakolero. Kyokka Palamenti yamusimbira ekkuuli ng’egamba nti ebiwandiiko bye byogera emyaka gya njawulo mwe baamuzaalira. Ebiwandiiko by’obuyigirize byali biraga nti yazaalibwa 1973, ebbaluwa emwogerako (Curriculum Vitae) ng’eraga yazaalibwa 1974, ate ekirayiro kya kkooti nga kiraga 1979!
Yaddayo mu kakiiko mu July2016, kyokka era ne kagaana okumuyisa wadde nga yali atereezezza ebiwandiiko bye. Mu 2018 – 2020, Ntabazi yaggulwako misango gy’okujingirira ebiwandiiko by’obuyigirize, kyokka n’agiwangula mu 2020 olw’oludda oluwaabi okubulwa obujulizi.
Mu 2021, Pulezidenti yamulonda nga Minisita ow’ebyobusuubuzi era Palamenti n’emukakasa. Ku mulundi guno, era yazzeemu n’emukakasa nga Minisita omubeezi ow’ebyettaka. Flavia Munaaba. Munaaba naye mu 2011 yasanga obuzibu oluvannyuma lw’okulondebwa nga minisita omubeezi ow’obutonde bw’ensi.
Palamenti yasooka n’emusimbira ekkuuli, ng’egamba nti we yabeerera mu ssinga eddamuzi alina emisango egyamusingisibwa nga gyekuusa ku kukozesa obubi
ofiisi, era okumukakasa baamulagira aleete obujulizi obulaga nti yagiwangula.
Wabula Munaaba yagenda n’aleeta lipooti eziraga nti emisango yagisinga, n’aleeta n’ebbaluwa eziraga nti abadde mukozi mulungi okuva mu ssinga eddamuzi, olwo akakiiko ne kamukakasa n’atandika okukola emirimu.
EBYA MUGANGA NE BANNE
Kati eggwanga lirindiridde okulaba engeri Pulezidenti Museveni gy’agenda okukwatamu ensonga za Baminisita abaasuuliddwa Palamenti, ng’amaze okwetegereza ebiri mu lipooti. Wabula Bukedde yakitegeddeko nti ku Mmande, Ayebare, Musherure ne Echodu baagenze ku kitebe kya America mu Uganda, ne bakuba ekirayiro ekisazaamu obutuuze bwabwe mu America.

Tags: