Emboozi

Ebivaako abasawo okubulwa endwadde

MOSES Oucho,57, ow’e Nsangi aleeanya n’amagulu lwa katulututtu akaatandikira ku kakongovvule k’okugulu okwa kkono.

Oucho mu bulumi, agamba obulwadde obumuluma bukyabuze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MOSES Oucho,57, ow’e Nsangi aleeanya n’amagulu lwa katulututtu akaatandikira ku kakongovvule k’okugulu okwa kkono.

Waayita ennaku mbale  n’okwa ddyo ne  kukwatibwa. Kati emyezi musanvu nga Oucho apooca n’obulumi.  Agamba nti, abunye amalwaliro nga ne Kkulu e Mulago yamalayo emyezi esatu kyokka obulwadde bukyabuze.

Abakugu bakkaanya nti, okubula kw’obulwadde  kuyinza okuva ku mulwadde, ku musawo akebera, ebyuma  ebyeyambisibwa oba obulwadde  bwennyini okwekweka.
OBULWADDE LWE BWEKWEKA
Dr. Stephen Lwanga okuva kuAkharmuh Health Centre m   Ndeeba, agamba nti, kiyinza
okuva ku:
 Ekirwadde kiyinza okuba ekipya nga tewannabaawo  byuma bikiraba mangu, ate oluusi nga kirina obubonero  obufaanagana n’obw’obulwadde  obulala.
 Obuwuka bw’obulwadde obumu buba n’enkola y’okukyukakyuka ng’ebyuma tebyanguyirwa kubuzuula.
ABASAWO LWE BAVAAKO OBULWADDE OKUBULA
1 Enkuuma y’ebikozesebwa : Ebyuma ebikebera  obulwadde birina embeera  y’ebifo ennambike mwe birina okukuumirwa. Ebyuma ebirina okukuumirwa mu bifo ebitaliimu bbugumu bwe bikuumirwa mwe liri biyinza  obutakola mulimu mu butuufu  bwagwo.
2 Enkuuma y’omusaayi embi : Omusaayi oguggyiddwa ku mulwadde abasawo bakebere
ebirimu omusawo singa agukuumira mu kifo oba mu  kacupa akatali kasaanikire,  obuwuka buyinza okutoloka oba  okufa omusawo n’akebera nga  tewali ky’alaba.
3 Sampulo  y’ebinoonyezebwamu  obulwadde singa bitabulwa ne bitakwatagana nakyo kibuza obulwadde obutuufu obuluma  omuntu.
Omusawo ayinza okukola  ensobi nga yakung’aanya sampulo y’omusaayi  gw’omulwadde omu kyokka mu butanwa n’agusibako erinnya ly’omulwadde omulala.  Kino kya bulabe kubanga kivaako okufuula atalina bulwadde  nti abulina ate abulina n’abuggibwako mu bigambo.
OMUSAWO AWADDE AMAGEZI
Dr. Lwanga agamba nti, kino kya bulabe eri abalwadde bombi kubanga omu oba bombi  bayinzaokujjanjabwa endwadde ezitali zaabwe. Agamba nti, embeera  eno tetera kubaawo naddala ng’abasawo abali ku mulimu batendeke bulungi. Omulwadde ayinza okuddamu n’aggyibwako ebikeberwa okuzuula oba waaliwo obutakwatagana bwa sampulo. 4 Obukoowu bw’omusawo : Omusawo muntu ng’abalala, ayinza okukung’aanya ebintu mw’agenda okunoonya obulwadde kyokka n’akolamu
ensobi n’evaako obulwadde okubula.
5 Omusawo ayinza okukola ensobi ku kakebe ka sampulo  n’awandiikako nti, temuli bulwadde ate ng’oluusi bubaddemu.
6 Singa omusawo akozesa ebyuma ebitatuukana na  mulembe. Obulwadde olumu bukyusa enkola oba amabala nga bugezaako okudduka abalabe. Mu kino butuusa ekiseera nga n’ebyuma birina okukyuka.

OMULWADDE LW’AVAAKO OBULWADDE OKUBULA
Dr. Brian Arinaitwe owa AAYAA LIFE CARE mu Ndeeba, agamba  nti, ekimu ku by’obulabe era ekivaako obulwadde okubula z’ensobi ezikolebwa omulwadde yennyini, okuli:
1 Okunnyonnyola entandikwa y’obulwadde : Omulwadde atajjukira bulungi ngeri  bulwadde gye bwamulumbamu
ayinza okuvaako obulwadde okubula. Omuntu ateekwa okulunda omubiri gwe nga
ekituuka ku mubiri gwe amanya  kwe kivudde n’engeri gye kitandise.
2 Omulwadde okwewandiikira eddagala : Kya bulabe omulwadde okweteeka ku ddagala eritamulagiddwa musawo mukugu. Eddagala erimu likonya obulwadde oba  okuleetera obuwuka okwekweka ebyuma ne bitasobola kuzuula bulwadde.
 3 Omulwadde okukozesa ekika ky’eddagala ku lunaku lw’agenda okukeberwa. Obulwadde obumu  bubula okumala akabanga singa omulwadde agenda okumukebera ng’amize oba okunywa  ekika ky’eddagala ekitamulagiddwa musawo. Kisaanye  ogoberere amateeka g’omusawo osobole okuyambibwa. 4 Omulwadde obutajjukira  bizze bituuka ku mubiri gwe : Endwadde ezimu zitandika mu ngeri nga nnyini mubiri  yekka (omulwadde) y’alina okugimanya. Ekifuba kiyinza okuluma omuntu ate nga mu
bukugu bw’ekisawo kirina kye kiranga kyokka omulwadden’atakibuulira musawo ow’obutakijjukira.
5 Omulwadde okuva ku biragiro by’abasawo : Omulwadde eyagaanibwa okunywa omwenge oba ekirala kyonna ayinza okukikozesa ne kibuza obulwadde.  Abasawobagamba nti, tekitera kubaawo endwadde okubula, era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation n’ebirala bakola butaweera, era okuwulira ku kirwadde ekipya basitukiramu nga bwe kyali ku bulwadde bwa COVID 19.
BAWADDE ABALWADDE AMAGEZI

Dr. Lwanga agamba nti, obulwadde obuzuulwa nga tebumanyiddwa butera okutuumibwa amannya agalina akakwate n’abazuula eddagala oba ekirala. Awa eky’okulabirako kya COVID 19 nti, bwatandika okumanyibwa mu mwaka 2019.

Tags: