Emboozi

Aba Uganda Clays bakoze amagoba ga Bukedde142

Abalina emigabo mu kkampuni ya Uganda Clays Ltd bakufuna ku kaseko omwaka guno nga basuubiziddwa okuddamu okufuna amagoba mu migabo gyabwe.

Aba Uganda Clays nga bannyonnyola ebituukiddwaako
By: Silvano Kibuuka, Journalist @New Vision

Abalina emigabo mu kkampuni ya Uganda Clays Ltd bakufuna ku kaseko omwaka guno nga basuubiziddwa okuddamu okufuna amagoba mu migabo gyabwe.

Kino kiddiridde kkampuni eno okulangirira nti bazzeemu okukola amagoba nga baakoze obukadde 142 mu mwaka gwa 2025/26.

Abakungu ba Uganda Clays nga bannyonnyola

Abakungu ba Uganda Clays nga bannyonnyola

Bino byalangiriddwa abadde ssentebe w’oluliiko oluddukanya kkampuni eno, Ying. Martin Kasekende mu ttabamiruka gwe baatuuzizza ku Lwokutaano ku mutimbagano nga basinziira ku woteeri ya Mestil e Nsambya.

Kasekende yategeezezza nti okuva mu 2022 babadde tebakola magoba okugabira abalina emigabo abawerera ddala 2738 bassekinnoomu n’amakkampuni 55 abali mu ggwanga n’ebweru.

“Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tetukola magoba, mu 2025  tukoze ga bukadde 142 era tujja kutambulira ku miramwa egitusobozesezza okukikola. Kino kituwa essuubi nti bannannyini migabo baakutandika okweyagala omwaka guno,” bwe yategeezezza.

“Nkubira bannayuganda n’abalala okwettanira okugula emigabo kubanga tukoledde. Emyaka ebiri tubadde tutubidde mu mabanja mwe tusasulidde ensimbi obuwumbi buna (sh4b) naye tugasasudde,” bwe yayongeddeko.

Yayongeddeko nti ebyuma baleese bipya ate nga n’akatale kongedde okugaziwa mu mawanga ag’omuliraano nti kiwa essuubi ddene.

Uganda Clays

Uganda Clays

Wabula maneja era akulira eby’ensimbi, Johnes Muhumuza alabudde ba ajeenti baabwe abatunda ebintu by’amakkampuni amalala nti tenda zeebwe zakusazibwamu kubanga kyonoona omutindo.

Ono ategeezezza nti ebbeeyi ereeme kutiisa bakasitoma kubanga baba bafunye amategula ag’omutindo agakakasiddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo ekya URSB.

Ono era agumizza abalina emigabo nti gavumenti tejja kuyimiriza bigenda mu maaso ku fakitole za Uganda Clays kubanga batuukiriza ebisaanyizo b’obutonde era g’omwaka gwa 2025 baawadde emisolo gya buwumbi kumpi 35 mu kitongole kya URA.

Tags: