NG’OMAZE okuzimba ennyumba y’ente mwe zigenda okubeera, waliwo ebizimbe n’ebifo ebirala by’olina okussa ku ffaamu ebigenda okuwagira entambuza ya ffaamu n’ebirimu, okuli:
1 Awakuumirwa obuyana : Ennyana ezizaalibwa by’ebiseera bya ffaamu eby’omu maaso era ensulo y’ennyingiza kuba z’ogenda okukuza okuzza mu zikaddiye ate n’okuguza abalunzi abalala abagenda okujja nga baagala okufuna ku lulyo lw’olina.
Noolwekyo, zeetaaga okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo nga n’ennyumba yaazo erina okubeera nga ya njawulo.
Ennyana zeetaaga okukuumibwa mu bbugumu ekitegeeza nti, ennyumba yaazo yeetaaga okubeera n’ebisenge ebiwanvu okusinga ku y’enkulu era nga ne wansi ossaawo omuddo omukalu gw’olina okukyusanga buli luvannyuma lwa kiseera.
Mu ngeri y’emu, olina okugizimba mu ngeri eyanguyiza abaziwa amata kuba omulunzi w’ente nga bizinensi ennyana tezirina kuyonka wabula okuweebwa amata, amazzi, emmere oba omuddo nga zituusa okutandika okulya.
2 Awakamirwa : Amata ky’eky’ettunzi ekisinga okufunibwa mu nte nga ggwe ali mu bizinensi y’ente z’amata kikwetaagisa okuzimba ekifo w’okamira.
l Ekifo kino kirina okubeera nga tekiri mu nnyumba mwe ziriira n’okusula. Ekifo kino kirina okuzimbibwa nga kyanguyiza ente egenda okukamibwa okutambula eyingire ate ne bw’ebeera eyimiridde n’omukozi.
l Obunene bwakyo businziira ku bungi bw’ente z’olina era nga kirina okubeera nga kiyonjo ddala okwewala okukyafuwaza amata.
Bw’obeera ogenda kukozesa byuma okukama, osima ekinnya nga bw’olaba eky’amakanika mmotoka omukozi mw’ayimirira ng’assa ebyuma ku mabeere ng’ente, ate ente nga ziyimiridde waggulu ng’okusinziira kubitongole by’omutindo gw’amata.
l Ebisenge birina okuba nga biweweevu ate nga byozeka era ng’amazzi ganguwa okukala.
l Mulina okubeeramu amazzi ente ekamibwa g’esobola okunywa (liita 60-70 buli nte olunaku) era baziteeramu n’ebyokulya okuzikkakkanya mu kiseera nga zikamibwa. Mulina okubeeramu oba ne genereeta singa amasannyalaze gavaako.
l Kirina okubeera nga kitangira abantu n’ebisolo okuyingiramu okwewala okukyafuwaza amata n’okutaataaganya ente ezibeera zikamibwa.
3 Eddwaaliro : Olw’okuba ente zirina obulamu era zisobola okulwala ekiseera kyonna, kikulu okubeera n’ekifo awakuumirwa ebeera erwadde.
Ente erwadde ebeera yeetaaga okwawulwa okusooka okutangira obulwadde okusaasaanira endala kyokka n’okugiwa endabirira ey’enjawulo esobole okufuna amangu amaanyi eddemu okukuwa ssente.
Ekifo kino era osobola okukissangamu ente ezifunye emize ng’ezeeruma amabeere n’osobola okugijjanjaba n’okugirondoola okusala amagezi ku ngeri y’okutangira emize gino.
4 Sitoowa : Kikulu okubeera n’ekifo w’ogenda okutereka emmere y’ente zo okukakasa ng’obeera n’emmere ekiseera kuba enkuba esobola okutonnya nga tosobola kugenda mu ffaamu kutema muddo kyokka nga zirina okulya.
Mu ngeri y’emu emmere gamba omuddo omukalu ekika kya Hay gwetaaga okukuumibwa mu mbeera egukuuma nga tegubisiwadde ekiguviirako okukukula nga wano obeera olina kugusuulayo.
Sitoowa yeetaaga okusalibwamu ebisenge okwawula ebiterekebwamu gamba ekisenge omuterekebwa eddagala n’emmere ate n’ebikozesebwa ku ffaamu, kuba singa gamba eddagala liyiika mu mmere kiyinza okuvaako obutwaobugenda okukuttira ensolo zo.
5 Ennyumba y’abakozi : Abakozi ba ffaamu bandibadde basula kumpi ne ffaamu okukakasa nga babeerawo ekiseera kyonna ky’obeetaaga okubeerako kye bakola ate n’okusigala nga balondoola embeera z’ente, kuba ente eyinza okutuukibwako ekizibu gamba okugwa n’ekosa okugulu n’ekaaba nga tewali ayinza kugiyamba singa abakozi babeera wala.
Mu ngeri y’emu kyongera ku bukuumi ng’abakozi batandikirwako singa wabeerawo ababbi oba ebisolo ebirumbye ffaamu.
6 Awakung’aanyizibwa obusa :
Obuyonjo kimu ku bikulu by’oteekeddwa okussaako essira ku ffaamu. Noolwekyo weetaaga okussaawo ekifo ky’enjawulo w’okung’aanyiriza obusa n’ebicaafu ebiri ku ffaamu okusobola okugikuuma nga nnyonjo.
Ekifo kino kyandibadde kibeera walako n’ennyumba y’ente kuba muyinza okuvaamu ebiwuka oba obulwadde obuyinza okuva mu bucaafu buno.
Obusa era osobola okubukolamu omukka ogufumba oguyitibwa Biogas nga kino kikutonderawo n’ensulo y’ennyingiza ya ffaamu ng’otunda obusa eri abalimi abaagala okubukozesa ng’ekigimusa.