EMMOTOKA bw’efuna akabenje oluusi ebeerako ebyuma ebyonooneka nga bino ne bw’obitetenkanya otya tebisobola kuddawo wadde nga waliwo ebimu ebiddawo naddala singa akabenje tekaba ka maanyi.

Makanika ng'aliko by'asumulula ku mmotoka efunye akabenje.
Fuleemu ya mmotoka; Ekitundu kya fuleemu ya mmotoka eky’omu maaso oluusi kiyitibwa ‘Nose Cut’ nga kino singa okizuula nga kyewese, kitegeeza nti mmotoka eba ekoseddwa nnyo.
Mu mbeera eno singa omugoba awaliriza n’agivuga, eba etambula yeewese. Buli fuleemu lw’ekyama kitegeeza nti ne ‘susipensoni’ ya mmotoka eba ekyamye ate nga y’egatta emipiira wakati wa fuleemu ne ‘cross member’, yingini kw’etuula.
Buli fuleemu lw’ekyama ate ngekwataganye ne ‘suspension plate’ (entabiro y’emipiira) kitegeeza nti n’emipiira girina kukyama. Bw’okizuula nti emmotoka bw’egudde ku kabenje bino bikyamye, oba olina okubikyusa ofunireko ebirala ebiramu.
Fuleemu yo esobola okugololwa n’eddawo naddala nga tekoseddwa nnyo kyokka nga kino ku sasipensoni ne ‘cross member’ kiba tekikola era yo bw’efa, ebeera efiiridde ddala.
Mmotoka yonna buli lw’ekyama n’owaliriza okugivuga, obeera weereetera buzibu bwa kufuna kabenje kuba obeera ogisala edde ku ludda lw’oyagala, ate nga yo edda ku lulala ekiyinza okukuviirako okufuna akabenje.
Kyokka tulina okujjukira nti buli omuntu lw’avuga emmotoka eteri mu mbeera nnungi, obulamu bwe bw’aba atadde mu matigga.