ABANTU bangi bafuna ekizibu ky’okukendeera kw’omusaayi mu mibiri gyabwe ne balwawo okukinogera eddagala, abamu ne batuuka n’okussibwako eccupa z’omusaayi kyokka nga basobola okukozesa eddagala ly’obutonde eribeetoolodde okuziyiza ekizibu kino oba okukiwonya.

Hibiscus
Ebikoola bya ovakkedo: Bino bijjudde ebirungo nga Vitamiini C, Potassium, Zinc, Iron, Calcium ebiyamba omuntu okuddamu omusaayi. Omukugu agamba nti, olina kufuna ebikoola ebitaliiko butuli n’obyozaako.

Ebikoola bya ovakkedo
Enkooge: Zino oziteeka mu mazzi amafumbe n’onywa. Omubisi oguzivaamu ofunamu Vitamiini, Potassium, Zinc ebiyamba omusaayi okutambula obulungi ne gutuuka muLino terikaawa naye ddagala ddungi eri abo abatalina musaayi era abalina obuzibu bw’okusannyalala, fumba okumala eddakiika 20 onyweebikopo bibiri (2) buli lunaku.
Ssezira: Akaddo kano kamera buli wamu naye abantu abasinga tebakamanyi nti, kazzaamu omusaayi singa okakozesa ng’omukugu bw’akulagiridde. Kano kalimu ebirungo nga Iron, Potassium ebiyamba okukola omusaayi.
Ebbugga: Lino osobola okulirya ng’enva zokka kubanga ddungi mu kukuuma omubiri
nga gulina omusaayi ogumala olw’ebirungo nga potassium, magnesium, calcium ebirimu ebiyamba mu mbeera eno.

Ebbugga
Ekkajjo ly’enjovu: Nalyo ddungi mu kwongera omusaayi, fumba onyweeko ekikopo kimu buli lunaku okumala akaseera akagere.

Ekkajjolyenjovu