Emboozi

Kozesa ekigimusa eky’obutonde kikuyise mu kyeya

KYUKAKYUKA y’embeera y’obudde ensangi zino eyongedde okufuukira abalimi ekizibu era bangi naddala ab’emmwaanyi mu bitundu by’e Buddu n’ebirala bataataagazinyiziddwa nga n’emisiri gyabwe gibabuse.

Aminah Nannono (ku kkono) ng’alaga ebigimusa okuli ekya Cchadi FO-20 n’ekya Cchadi Worm Tea kye bakola. Ku ddyo ye, Ashiraf Ssebandeke omu ku b’akola nabo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KYUKAKYUKA y’embeera y’obudde ensangi zino eyongedde okufuukira abalimi ekizibu era bangi naddala ab’emmwaanyi mu bitundu by’e Buddu n’ebirala bataataagazinyiziddwa nga n’emisiri gyabwe gibabuse.
Kyokka newankubadde embeera eri bw’eti, naye waliwo ennimiro ku kyalo Mirembe A

ekisangibwa mu muluka gw’e Gayaza mu ggombolola y’e Kitanda mu disitulikiti y’e Bukomansimbi gy’oyinza okulowooza nti, yo bafuna enkuba buli lunaku olw’endabika yaayo.
Ennimiro eno ya Aminah Nannono omutuuze ku kyalo kino. Alima ebirime eby’enjawulo omuli; emmwaanyi, olusuku, enva endiirwa n’ebirime ebirala.
Byonna bino abirima mu nnima ya butonde era ng’agattako n’okulunda ensiring’anyi.
Ekisinze okufuula Nannono omulimi ow’enjawulo, bye bigimusa eby’obutonde by’akola okuli ekimanyiddwa nga Cchadi FO-20 ekiva mu nnakavundira wamu ne Cchadi Worm Tea nga kino akikola okuva mu nsiring’anyi z’alunda. Bino abikolera mu kkampuni ye eya Bukoma Organics ekolagana n’ekitongol ya Advocacy Coalition for
Sustainable Agriculture (ACSA) okutumbula ennima y’obutonde.
EBIGIMUSA BYE NKOLA BIYAMBA OMULIMI OKUYITA MU KYEYA NGA
TAKOSEDDWA
Nannono agamba nti : Bw’otuuka e Bukomansimbi n’otunuulira emisiri gy’abantu egy’emmwaanyi, egisinga gyonna giwotose olw’ekyeya ekituyiseemu, kyokka bw’otuuka ku zange, zonna za kiragala ng’oyinza okulowooza nti, nzifukirira ate kye sikola.
Ebigimusa byange bye nkola biyamba ekirime okufuna amaanyi ne kisobola okukozesa amazzi amatono agaba gali mu ttaka okuyita mu kyeya nga tekikoseddwa.
entakera, ojja kufuna amakungula g’oyinza okuba nga tofunangako ebbanga ly’obeeredde mu bulimi.
TWETTANIRE ENKOLA Y’EBYOBULIMI ETUYAMBA OKUYITA MU KYEYA
Abalimi fFenna tutandise okukikakasa nti, ddala enkyukakyuka mu mbeera y’obudde
weeri, emmwaanyi n’ebirime byaffe ebirala bikaze era tuyinza okugwa mu katyabaga k’enjala mu ggwanga. Kati okusobola okuyita mu mbeera eno, tulina okwongera amaanyi mu nnima eyo esobola okutusobozesa okusigala nga tufuna amakungula amalungi abantu basobole okufuna emmere ebamala ate nga ya mutindo.
Nze ku bimu bye nakola, ng’oggyeeko okuba nga nkozesa ebigimusa eby’obutonde ebinnyambako okukuumira amazzi mu kirime ne mu ttaka, nasima n’ekidiba mwe nkung’aanyiza amazzi aga mukoka naddala ayita mu luggya lwange.
Ebika by’ebigimusa ebyo ebibiri bye tukola bikola ku birime byonna omuli ebikula amangu gamba nga kasooli, ebijanjaalo, n’ebirala wamu n’ebiwangaazi okuli emmwaanyi n’ebitooke. Ku birime nga kasooli, bw’oba ogenda okubisiga, osobola okusooka n’omunnyika mu kigimusa kino. Bw’oba ng’onaamunnyika, ofuna mmiiru 200 n’oziteeka mu liita ttaano ez’amazzi n’omunnyika okumala ennaku bbiri n’oluvannyuma n’osiga, wano bw’aba amera, abeera wa maanyi ddala. Bw’agenda akula, osobola okumufuuyirangako ekigimusa kino ng’otabudde mmiiru 100 ku bbomba eya liita 20.
Ku bijanjaalo, olina okukifuuyirako nga kiwezezza wiiki bbiri, ku lumonde, fuuyira ng’omaze okumukoola ne mu kiseera ng’amalagala gamaze okubukala ekikata. Ku bitooke n’emmwaanyi fuuyira ku bikoolaOluzzi lwe baasima, lutereka amazzi agasukka mu liita 100,000 ate nga saakozesa ssente nnyingi mu kugasima. Newankubadde sigakozesa nnyo mu kufukirira olw’ekigimusa kye nkozesa wamu n’ennimiro yange okuba ng’ejjudde emiti eginnyambako okugikuuma nga mpeweevu, naye omulimi yenna ensangi zino alina okusala amagezi okulaba ng’afuna enkola esobola okumuyamba okufukirira.
Kuno kw’ogatta enkola endala omuli ez’okubikka, okutema ensalosalo mu nnimiro wamu n’endala ezisobola okutuyambako okukuumira amazzi mu ttaka.
Ate Ashiraf Ssebandeke nga naye akola ne kkampuni ya Bukoma Organics yakubirizza abavubuka okwettanira obuyiiya obw’enjawulo naddala obuli mu nnima y’obutonde kubanga ensi gy’eraga, abantu bagenda kutandika okwewala okulya emmere etalimiddwa mu nnima eno olwo ggwe atalimye mu nnima ya butonde obulwe akatale akalungi

Tags: