Emboozi

EBIVUDDEKO ABASAJJA OKUBA N’ENKWASO ENTONO N’OBUJJANJABI

ENKWASO ge maanyi g’omusajja okuzaala, wabula ensangi zino bangi basoomoozebwa n’obungi ssaako obulamu bw’enkwaso zaabwe ne batuuka okulemererwa okuzaala.

Omulyala ng’ayonsa omwana we.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENKWASO ge maanyi g’omusajja okuzaala, wabula ensangi zino bangi basoomoozebwa n’obungi ssaako obulamu bw’enkwaso zaabwe ne batuuka okulemererwa okuzaala.
Wadde ng’ennono z’ebitundu ebisinga obutazaala babussa ku bakyala, okunoonyereza kulaga ng’abasajja abamu bafuna obuzibu n’obulamu bw’enkwaso zaabwe ekibalemesa okufunyisa abakyala embuto okuzaala abaana.

Dr. Dalausi Ssempijja owa Case Hospital agamba nti, wadde ekizibu kino weekiri mu basajja mu bitundu eby’enjawulo, abasajja batono abagenda mu malwaliro okwekebeza basobole okumanya obuzibu bwe balina.
Dr. Ssempijja, agamba nti, okuzaala kuba kwa bantu babiri kyokka obuwangwa n’ennono mu bantu mu bitundu eyo buli omu gy’awangaalira balowooza nti, bakazi bokka be batazaala kyokka nga n’abasajja bangi abalina enkwaso eziriko obulemu ekiziremesa okuzaala.
“Emirundi mingi tukebedde abaagalana ne tukizuula nti, omukyala asobola okuzaala kyokka ng’omwami yaatazaala. Singa omusajja yeekebeza asobola okumanya obuzibu bw’alina n’asobola okuyambibwa,” Dr. Ssempijja bw’agamba.
Annyonnyola nti, enkwaso z’omusajja okusobola okufunyisa omukyala olubuto, amazzi gaafulumya gaweza gulaamu kkumi n’omusobyo ate ng’enkwaso nnamu bulungi nga zirina emikira okuwugira mu mazzi okutuuka ku ggi.
BWE BAKEBERA ENKWASO
Singa omwami n’omukyala babeera bonna okumala akabanga naye nga banoonyezza omwana ababuze kibawa ekirowoozo ky’okwekebeza oba bazaala oba nedda.
Dr. Frank Kayanja okuva mu Case Hospital agamba nti, nga tonnagenda kukukebera oba enkwaso zifunyisa olubuto oba nedda, olina okusooka okulaba omusawo n’abaako by’akubuuza.
“Kino oluusi abamu bakigaya naye kirina amakulu kuba wabeerawo embeera ng’omusajja asisinkana ne mukyala we lumu mu mwezi oba emyezi ebiri oba omwaka nga bw’olaba abakola ssafaali oba ekyeyo,” Dr. Kayanja bw’agamba.
Bangi balowooza nti, olwegatta ng’omukazi afuna olubuto oluusi ekitasoboka.
EBIVAAKO ENKWASO OKULWALA
1 Obujjanjabi bw’amasannyalaze: Obujjanjabi ng’okukalirira abalwadde ba kookolo, amasannyalaze gasobola okukosa obulamu bw’enkwaso z’omulwadde.
2 Okubuguma mu sawuna: Mu butonde bw’abasajja, talina kubeera mu bbugumu lisusse ng’eribeera mu kifo kino ekyoterwamu (sawuna) kuba ebbugumu eryo lireetera enkwaso okunafuwa n’ezimu okukosebwa. Eno y’ensonga lwaki edda abazadde baagaananga abaana baabwe abalenzi enkoto okwewala obuzibu obuyinza okuva ku bbugumu ly’ekyoto.
3 Okufuuweeta sigala: Ebirungo ebiri mu sigala n’emmindi bivaako okukosa obulamu bw’enkwaso ne zituuka okulemererwaokuwuga okutuuka ku ggi ly’omukyala okuliwakisa.
4 Okunaaba amazzi agookya: Nga bwe guli ku sawuna, omusajja talina kunaaba mazzi gookya kuba ebbugumu eryo livaako okwonoona enkwaso.
5 Okwekapika: Waliwo abasajja abamu abambala obupale obubalippa ennyo ne bikosa entula zaabwe ekivaako enkwaso okulemala.
6 Okulya obubi: Wadde ng’esonga y’okulya bangi bagibuusa amaaso, kuba tewali mmere emanyiddwa kuleetera nkwaso kukuuma nkwaso nga nnamu bulungi. Omusajja okulya emmere etegasa mubiri gwe nga cipusi, pizza, capati (kimando) n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo, emmere ekika kino, osobola okufunamu endwadde nga ssukaali nga ezo zikosa n’obusajja omuli obutasituka, ate ng’atakikola tasobola kufulumya nkwaso.
7 Obuzaale : Waliwo abasajja abamu nga baazaalibwa n’enkwaso ezirina obuzibu nga tezisobola kutambula kutuuka gye ziteekeddwa kutuuka kusobola kufunyisa mukazi lubuto.
8 Endwadde: Waliwo endwadde nga ssukaali, omugejjo n’endala ezikendeeza amaanyi g’ekisajja.
9 Entambula: Abazadde abamu okutuuza abaana baabwe ku kameeme kyabaviirangako okufuna obuzibu bw’okulwaza enkwaso zaabwe olw’ebbugumu erisusse eriva mu yingini erifulumira ku kameere.
BWE WEETANGIRA EBIZIBU BINO
Mu kiseera ng’omusajja azze mu ddwaaliro okukeberwa oba okuzaala, kibeera kirungi okusooka okwekebeza ategeere oba enkwaso ze nnamu ekimala.
“Singa kizuuka ng’omusajja alina enkwaso nnafu, asobola okuyambibwa okuyita mu nteekateeka y’okuwakisa amagi ebweru ne bassa eggi eriwedde okuwakisa mu mukyala (IVF), ne basobola okuzaala,” Dr. Kayanja bw’agamba.
Agattako nti, singa omusajja ozuulibwa nga ekirungo ekikola enkwaso ennamu ekya ‘testosterone’ tekiri mu mubiri, basobola okukuwa ekirungo ekyo mu ddagala n’okifuna mu mubiri n’osobola okuzaala.Olw’okuba omubiri gwe gwekolera enkwaso, kikulu okulya obulungi okuume omubiri nga mulamu.
Waliwo abeemulugunya ku pampa naye tewali kunoonyereza kumala kwakoleddwa ku nsonga eno.
Wadde nga obuzibu bw’okuba n’enkwaso ezitasobola kufunyisa mukyala lubuto zisobola okuva ku butonde, nga omuntu bw’atyo bwe yazaalibwa naye ebirala ebisobola okukireeta eba ngeri baami gye beeyisaamu ku mulembe guno.
Okukebeza enkwaso kuli wakati wa 70,000/- ne 120,000/- okusinziira ku ddwaaliro omuntu ly’aba agenzeemu.

Tags: