Emboozi

Obulimi n’obulunzi gye bivudde okuyimirizaawo ebyenfuna bya Uganda

OKULIMA n’okulunda gwe mulimu ogw’enkizo oguyimirizzaawo Bannayuganda okuviira ddala ku mirembe gy’abafuzi b’Amatwale okutuusa leero, era nga kimanyiddwa nti, ebyenfuna by’eggwaga kwe biyimiridde.

Muwogo eyabanga ow’okulya, kati kimu ku birime ebyettunzi mu ggwanga. Wano abalimi nga balaga muwogo eyasimiddwa engeri gye yabala.
By: Bya HERBERT MUSOKE, Journalist @New Vision

OKULIMA n’okulunda gwe mulimu ogw’enkizo oguyimirizzaawo Bannayuganda okuviira ddala ku mirembe gy’abafuzi b’Amatwale okutuusa leero, era nga kimanyiddwa nti, ebyenfuna by’eggwaga kwe biyimiridde.

Phillip Lubega, atwala ebyobulimi n’obulunzi mu Ssaza lya Kyaggwe, agamba nti, abantu ba Uganda baatandika okuyimirirawo ku bulimi n’obulunzi nga bakyali mu bukulembeze bw’ennono obw’enjawulo.


“Okugeza mu Buganda omuntu omwavu yalinga oyo atalina mmere kuliisa  amire ye, era okukakasa nti, buli muntu alina emmere n’okulwanyisa enjala, buli muntu alina ekibanja yalinanga okusimba olusuku lwa Kabaka ate n’omusiri gwa muwogo oba lumonde nga bya Kabaka,” Lubega bw’agamba.


Wadde ng’omusiri oba olusuku byayitibwanga bya Kabaka, emmere eyakungulwanga yaliibwanga  amire eyo, wabula nga bwe wabalukawo obwetaavu gamba nga waliwo abantu mu Ssaza eddala abalumbiddwa enjala, muno mwe baggyanga emmere gye baaweerezanga okubadduukirira ate n’okutona amakula ga Kabaka.


Edda waaliwo emmere eyalimibwanga okwetegekera ekiseera ky’enjala nga; amayuuni
naddala obukupa, emmere ey’omu ttaka nga balugu, ebisebe, amakobe, n’endala era baaterekanga n’emmere nga mutere owa muwogo ne lumonde.

 

Mu ngeri y’emu baaterekanga emmere mu byagi. Ebitundu ebirala nga Obugwanjuba, Teso, Karamojja n’awalala babeeranga balunzi naddala ab’ente n’embuzi.

Okutuusa leero bano bakyalunda, wabula okwawukana n’emyaka abantu gye baafanga ku bungi bw’ebisolo omu bye yalina wadde tezivaamu mata ate nga zikula mpola, leero abantu bano balowooza ku ky’asobola okufuna mu nsolo ze.

 

Mu ngeri y’emu, bbeeyi y’ebisolo yabeeranga wansi olw’endabika yaabyo era bangi ku
bano baatambulanga okuva mu kifo ekimu okudda ku kirala nga banoonya omuddo n’amazzi.


Leero amawanga gano gatandise okuzimba amayumba ag’enkalakkalira okukyusa
obulamu bwabwe era bangi batandise n’okulima emmere.

ABANTU BEEYUNIDDE OKULIMA EBIRIME EBIRONGOOSEEMU

Abamu batandise okukyusa ennunda n’endyo z’ebisolo bye balunda okufuna ezivaamu amata n’okukula amangu nga balundira mu nnyumba.


Okuwaanyisiganya wakati w’abalimi ng’abalimi gamba alima amatooke n’akyusa n’alima muwogo gw’atalina ate n’okuwaanyisiganya wakati w’omulunzi n’omulimi ng’owaayo amatooke okufuna embuzi y’engeri y’okugula n’okutunda eyasooka naddala mu masoso g’ebyalo.

 

Mu kiseera Uganda we yafunira obwetwaze mu 1962, Abazungu be baali basuubula ebirime ng’emmwaanyi, ppamba, n’ebirala ku Bannayuganda ne babitunda ku katale = k’ebweru ekyawaliriza abalimi okwekolamu ebibiina okulwanyisa okubbibwa.


Ebibiina bino era byayamba nnyo okukwataganya embeera y’obulimi n’obulunzi era bintu ebyakyusa naddala ennyingiza y’abalimi ssekinnoomu.


Oluvannyuma lw’okufuna obwetwaze, waatondebwawo ekitongole kya Co ee Marketing
Board n’ekya Lint Marketing Board ate n’ekyali kitunda taaba.

Abalimi baalung’amizibwa bibiina bya bwegassi nga East Mengo growers, West Mengo growers, Masaka growers, Busoga growers n’ebirala okukakasa nga bakuuma omutindo, okulwanyisa endwadde z’ebirime, okutereka ssente, n’ebirala.


Mu kiseera ekyo, Uganda yalina ebirime ebirambikiddwa okuvaamu ssente n’eby’emmere.
Ebivaamu ssente kwaliko emmwaanyi, ppamba ne taaba.

Ebirime by’emmere eriibwa tebyatwalibwanga nti, bivaamu ssente kuba kumpi buli omu yabeeranga n’emmere, abataalinanga nga basaka era nga kyewuunyisa omuntu okutunda oba okugula emmerenga n’obutale bw’ebweru tebunnaggulawo.


Leero abalimi bangi abalima emmere nga, kasooli, ebinyeebwa, soya, muwogo,
lumonde, amatooke n’endala nga ya kutunda. Abalim bettanidde okusiga ensogo ennongooseemu eziwa amakungula agawera okulya n’okutunda.


Obulimi bwalinga bwa kakumbi abantu ne bafunya emigongo olunaku lwonna, wabula leero bakozesa ebyuma nga ttulakita okukabala, okusiga, okufuuyira, okukungula

Tags:
OKULIMA
Buganda
Kabaka