TOP

Mwanyumidde omukolo!

Added 23rd November 2014

Shamirah Nansubuga yayanjudde mwana munne, Allan Nsubuga mu maka ga bakadde be e Kamuli.

Shamirah Nansubuga yayanjudde mwana munne, Allan Nsubuga mu maka ga bakadde be e Kamuli. Baabagattidde ku kkanisa ya Watoto North esangibwa e Kireka ne basembeza abagenyi baabwe ku kisaawe kya Rugby e Naalya.

Mmwe musingi gwa Klezia - Kalidinaali

“MMWE musingi Klezia kw’eyimiridde, mugunyweze nnyo temuterebukanga, Klezia ya Katonda esobole okunywera n’okuguma olubeerera”

   Bw’atyo Kalidinaali Emmanuel Wamala bwe yakuutidde abayizi ba City Parents bwe yabadde mu Mmisa ku ssomero lino ng’awa abayizi baayo b’essomero lino essakalamentu lya Kofirimansiyo.

                    Kalidinaali ng’awa abayizi  ba City Parents Kofirimansiyo.

Yabakuutidde bulijjo obutayuuga n’obutaswalira ddiini yaabwe wabula baginyweze butiribiri era bagibunyise wonna Kleziya ya Katonda esobole okunywera.

   Abayizi abasukka mu 50 be baafunye Kofirimansiyo era baasanyukidde nnyo Kalidinaali ne bamutonera ebirabo omuli n’ekimuli ekyamusanyusizza n’abasaba nti nabo eddiini bagyagale nga ekimuli kye baamutonedde kuba baalabye nga kirungi era nga bakyagala.

                   Omuyizi ng’akwasa Kalidinaali ekimuli okumwaniriza.

Kalidinaali yasinzidde mu kusaba kuno n’akuutira abazadde okubeera abasaale bulijjo mu kuyigiriza abaana eddiini kuba omusingi omunywevu guva waka.

Mwanyumidde omukolo!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...