TOP

Obubizzi bw'abatalina mirimu bwandiba nga bwe bukuba KCCA ekisiraani!

Added 23rd November 2014

Ate kiki kino ekituuse ku KCCA ya Jennifer Musisi? Ekisiraani ky’obubizzi abavubuka abatalina mirimu bwe bagenda bamansa mu kibuga kye kireese ttagali?

Ate kiki kino ekituuse ku KCCA ya Jennifer Musisi? Ekisiraani ky’obubizzi abavubuka abatalina mirimu bwe bagenda bamansa mu kibuga kye kireese ttagali?

Kubanga okuggyako nti kisiraani kya bubizzi kye kitandise okutaabuukanya KCCA kale baaligudde batya mu nsobi ey’okuddira omwana wa Namutebi akyali omuwere ne bamuggyako eddembe lye ery’okuyonka ekyamuviiriddeko okuttibwa mmotoka ya KCCA eyamulinnyidde ku kitebe kya KCCA?

Obanga Namutebi azzizza omusango ogw’okutembeeyeza obumpwakimpwaki mu Kampala, ekintu Jennifer kye yabagaana edda. Ate omwana we omuwere kiki ekimuweesa ekibonerezo eky’okuggyibwako eddembe lye ery’okuyonka?

Ate laba omwana bw’aleetebwa ku kkooti ya KCCA nnyina gy’awerennembera n’ogw’okutunda obumpwakimpwaki era Namutebi n’ataweebwayo kadde kumuyonsaako! Wulira obulumi nga Ssemaganda ayiringise n’ava we bamuzazise n’ayingira mmotoka gye yamulinnyidde n’emutta, ekyo si kisiraani?

Mwattu laba omulambo gw’omwana bwe guteekebwa ku loole ya KCCA egutwale e Masajja guziikibwe ku biggya bya bajjajjaabe kyokka ate loole n’efiira mu kkubo. Laba ate omulambo bwe gukomezebwawo ku KCCA bagusuulire mukazi wattu Jennifer atuubagire nagwo. Kale oba ekya si kisiraani kya bubizzi abaffe ensi y’egudde eddalu?

Nedde nedda Jennifer olimba. Leka wabeewo amateeka agakuuma eddembe ly’abaana mu KCCA. Bannamutebi nga bayooleddwa olw’okutembeeya obumpwakimpwaki nga tebalina layisinsi, ate leka abaana baabwe baleme kuggyibwako ddembe lyabwe ery’okuyonka, kubanga, bo baba tebalina musango gwe bazzizza.

Ensi ejja kugwira ddala eddalu ekkankadda abaana ba bantu bwe banaalekebwa okufiira mu KCCA mu ngeri eyo ey’ekifamukokko.Sikulimbamu n’akatono!

 

Obubizzi bw’abatalina mirimu bwandiba nga bwe bukuba KCCA ekisiraani!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...