TOP

Mukyala wange namussaako amateeka 7 - Dr.Kasibante

Added 3rd February 2013

Mukyala wange namussaako amateeka musanvu n’akkakkana

DR. Deo Kasibante akolera mu ddwaaliro ly’e Kawolo ne mukyalawe Irene Nakirya naye musawo wadde nga bakolera wa njawulo bombi basawo batendeke kyokka nga bakolera mu malwaliro ga njawulo balojja okusoomoozebwa kwe basanze mu bufumbo bwabwe obw’emyaka 15 n’emirimu gyabwe. Bano batuuze e Lugazi:

DR.KASIBANTE:
EKIMU ku bisinga okutabangula amaka g’abasomye, kwe kukulembeza omwenkanonkano mu ngeri gye balina okugatambuzaamu n’ekivaamu kufuna butakkaanya n’ekiddirira kwawukana.

Nakyogeranga lunye nti siriwasa mukazi bwe tufaananya mulimu, naye ng’Omuganda bw’agamba nti “Atannafa teyeevuma ggwanga, nange nneekanga nsisinkanye Irene mu ttendekero ly’abasawo e Mulago nga ddala mukazi mulungi nga siyinza kumwesonyiwa.

Mu kusooka saalowooza nti ebintu bino byali byaddala kuba ffembi twali tukyalimu obuto naye bwe nneetegereza ennyo mu mwaka omulamba Irene gwe yantambuza nga mmukwana, nakizuula nga yali asaanidde okubeera omufumbi w’ettooke.

Nalabanga abawala bangi ng’abavubuka kumpi basika ku kutu, naye Irene yandaga enjawulo wadde
nga nali saagala kuwasa mukazi bwe tukola mulimu gumu.

Mu bbanga lye tumaze ery’emyaka 15, tufuniddemu ebirungi bingi naye era n’obuzibu nga amaka gonna bwe gaba.

Bwe twatandika okubeera ffembi, obuzibu bwe twasooka okusanga bwali bwa balwadde baffe ffembi abaatukubiranga amasimu ne mu matumbibudde nga tuli waka.

Mu busawo tutendekebwa enkwata y’abalwadde mu buli kimu gamba nga ; okwogera naye wadde ku ssimu kubanga ekyo ky’ekimu ku bimuyamba okussuuka oba obulwadde okweyongera.

Obuzibu bwe nsinze okusanga nti mukyala wange alina obuggya bungi era yalowoozanga nti bwe njogera obulungi n’omukazi nti twandibaamu engeri.

Wabula ate nange olumu bw’abaako omulwadde omusajja amukubidde essimu naddala mu budde obw’ekiro, mpuliramu bubi kyokka ne nsalawo okubyesonyiwa.

Bwe twalaba nga guli gutyo kumpi kwagala kusasika lwa bintu ng’ebyo, twatuula ffembi ne tubaga amateeka gaffe kwe tutambuliza obufumbo bwaffe ate mu kukkaannya.

1 Omwenkanonkano tegukola wano era Irene akimanyi nti nze musajja.


2 Irene akimannyi nti sirya mmere gy’atafumbye.


3 Buli omu alina okuddanga awaka ng’obudde bukyali.


4 Buli omu alina okutegeeza munne ekifo w’ali ne ky’akolayo.


5 Irene yalokoka naye namugaana okusaba ekiro era n’akiwuliriza.


6 Nali mpitirizza okunywa omwenge ne tukkiriziganya era kati nnywaako lwa lumu.


7 Buli omu talina kumala gasasaanya ssente atyo nga tabuulidde munne ky’azikozeemu.

IRENE  KASIBANTE:

Dr. Kasibante mmwebazaako kimu amanya mangu ensobi ye ate ne yeetonda. Ekyasooka okunterebula nga nnaakabeera naye, be bakazi abaamukubiranga amasimu mu matumbibudde. Wabula kino twatuula ng’abafumbo ne tukisalira amagezi era kati kyaggwaawo.

Waliwo ebiseera we yanywera ennyo omwenge ng’adda awaka mu matumbibudde, naye nneebaza Katonda nti na kino nakisabira era kati yakikendeeza.

Ekimu ku bintu ebibadde bisinga okunneeraliikiriza, ly’ebbanga eddene lye mmaze n’omwami wange oyo nga n’abaana tubazadde naye nga tanyega ku bya kumwanjula mu bakadde bange.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde, bwe yasazeewo ne mmutwala ne mmwanjula mu bakadde, omwoyo ne gukkakkana.

 

Mukyala wange namussaako amateeka 7 - Dr.Kasibante

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...