TOP

Yasin Lubowa: Abaana ab'ekikadde bankozesa

Added 17th September 2013

Yasin Lubowa, 58, bwe kiba kyuma ky’ekyo kye boogerako nga ekyuma kya kkalwe. Ku myaka 58, azannya firimu n’azisinza n’abavubuka era y’omu ku bazannyi aboogerwako mu kisaawe kya firimu ekikyali ekipya mu Uganda.Bya Hasifah Naava

Yasin Lubowa, 58, bwe kiba kyuma ky’ekyo kye boogerako nga ekyuma kya kkalwe. Ku myaka 58, azannya firimu n’azisinza n’abavubuka era y’omu ku bazannyi aboogerwako mu kisaawe kya firimu ekikyali ekipya mu Uganda.

Lubowa okumanya mmekete, ali mu bakyala babiri nga n’omu muto era ono y’amuzaalira abaana be abato b’oyinza okulowooza nti bazzukulu be ng’omusanze nabo.

Lubowa agamba nti asanze okusoomozebwa mu kukuza abaana abandibadde bamuyita jjajja kyokka ate nga ye kitaabwe.

Agamba nti: ‘ Abaana bange abato mbaagala nnyo kyenkana nninga eyaakatandika okuzaala. Bwe mbabeeramu mbeera nga ali ne bazzukulu bange era ebiseera ebisinga bammalako ebirowoozo kubanga bantwalira ddala nga muto munnaabwe lwakuba ekirungi bamanyi nti nze kitaabwe.

Ekirungi abaana bange abakulu beekolera abamu baafumbirwa, kati abo sikyabafaako nnyo wabula nnina olugendo lw’okukolerera bano abato, Mukama ne bw’aba anzigye mu bulamu bw’ensi eno basigale nga tebajula. Omukulu yekka ye yaakatandika okusoma abalala tebannaba ate nga bw’okimanyi ebisale by’essomero ensangi zino si byangu. 

Mw. Lubowa Yasin nabaana be; Janat Nalubowa Abubaker Kavuma ne ,Jamal Kalyango

Ebiseera ebisinga  bwe mba nga nnyinyuse naddala ng’ekisanja kya mukyala muto ntera kuddayo ssaawa 12:00 ez’akawungeezi olw’ensonga nti bato babeera baagala nnyo omukwano gwa taata olumu ekimpaamu obuzibu kuba mba nkooye ate nga bo ebyo tebabimanyi naye nga yadde gubeera gutyo,  sikirinaako buzibu bwa maanyi kubanga mbaagala nnyo.

Ebiseera ebisinga bwe bansaba okubatwalako awutu, nnemererwa  era bamaliriza bagenze ne nnyaabwe kubanga nze mbeera nkola okuggyako ku Idi ntera okugenda nabo mu kusaala lwakuba baana bawulize tebansumbuwa. 

Dokita amulabudde:

Wadde Lubowa agamba bwati naye Dr. Paul Namwanja owa St. Paul Diagnosis Center e Nansana agamba nti omusajja mu butuufu yandizadde wakati w’emyaka 18-50.

Omusajja bw’azaala ng’asussizza emyaka egyo enkwaso ze ziba zinafuye nga zirimu ekibulamu. Kino kiva ku ndwadde ezitera okukwata mu bukulu nga puleesa, ssukaali era bw’aba abirina n’alemera ku kuzaala b’osanga nga bazadde abaana abalina ebituli ku mitima n’endwadde endala.

Lubowa  ng’asala ennyama mu kirabo kye eky’emmere.

Omusajja mu kiseera ekyo obulamu bwe bubeera ku ddagala erimu libeera lya bulabe  n’omwana gw’azaala n’afunako.

Ekiralala emyaka 50 okwambuka gibeera gya  kuwummula jjukira omusajja buli lwe yeegatta n’omukyala n’atuuka ku ntikko abeera nga adduse mayiro 15.

Wadde omuntu asobola okukoma okuzaala ku myaka egyo gye tugambye, okwegatta tekuliiko kkomo naye ayinza okukendeeza ku mirundi gye yeegatta era bombiriri balina kukikola n’obwegendereza.

Atutumuse mu firimu

Lubowa afunye ettutumu mu kuzannya firimu z’Ebinnayuganda ezitandise wano jjo ly’abalamu. Agamba nti  ‘Okutandika okuzanya firimu nasooka kwebuuza ku mikwano gyange ne ging’amba ng’ende ngezeeko naye eyagenda okugezaako ate kati n’abaana abato bwe mbasanga mu kkubo bagegeenya bye nzannya’.

Lubowa  ng’asala ennyama mu kirabo kye eky’emmere.

Agamba nti yasomera Katwe Muluka mu 1962 p.7 n’agituulira  ku Police Children School e Nsambya. Yasomerako ne Kibuli sss.

Yasooka kukozesebwa ku kizimbe kya Minawa Inn ku Container Village mu 1970 era mu kiseera ekyo ng’alina emyaka 15.

Agamba nti: ‘Nga wayise omwaka gumu, mukama wange yasiima enkola yange n’antwala okukola mu kkampuni ya UTC (Uganda Transport Company). Muno nasooka kukola nga mpisiiyisi, mu 1973 bankyusa ne nfuuka kondakita era nze omu ku baafuna omukisa okukola mu bbaasi ezaayitibwanga Kabandole wamma ne tukola ssente nga  batusasula 180/- omwezi.

We naviira mu UTC mu 1978 nga wasigaddewo bbaasi ssatu zokka.

Kalina Lubowa gy’azimbidde mukyalamukulu.

Kojjange eyalina ekirabo ky’emmere ku William Street yampa omulimu gw’okukwata ssente era nakolanga bwe nsoma ku YMCA ebyokufumba. Mu 1980 nafuna dipulooma mu byokufumba.

MU 1979 nafuna  mukyala wange omukulu ng’ono yambonyaabonya okumufuna naye oluvannyuma yannyanjula mu maka ga bazadde be Hajji Juma Katongole e Kasana Masaka.

Ayingira eby’emmere

Mu 1981 natandika okwekozesa nga ndi ne mwannyinaze  Jalia nga tutunda byakulya okwali chapati, sumbuusa, kabalagala n’ebirala nga tubiwa abavubuka ne babitambuza. Oluvannyuma twafuna edduuka e Katwe era wano we twayingirizaamu mukyala wange.

Oluvannyuma twakola ekirabo ky’emmere okutuusa mu 2007 era mu kiseera ekyo mwe twazaalira abaana baffe abataano nga kati waliwo bana omu yafa.

Mu 2007 nasalawo okutunda ekifo ky’e Katwe kitange kye yali yandekera ne ngula e Kitende kati we mbeera ne mukyalamukulu.

Lubowa ne bakyala be, Yudaaya ( ku kkono)  ne Mariam nga ye mukyalamuto.

Mukyala wange nnamba bbiri namufuna mu 2008 nga ndi ssentebe wa LCI e Katwe. Yali azze kusaba buyambi ate agenda okumpitiramu ku bizibu bye nga munaku, nga bakadde be bombi baafa era nga yali anoonya ssente agende ewa jjajjaawe e Kaddugala. Ssente saazirina ne mmugamba agira abeera ewange nga bwe nzinoonya.

We yajjira ewange mukyala wange yali anobye anti olwo nga ntandise ebya firimu ng’alowooza nti bwe mba ng’enze okwegezaamu  mba mu bakazi ekintu ekitaali kituufu.

Wakati mu kunoonya ssente  ate nagenda okulaba ng’alabika bulungi era awo we twatandikira. 

Bwe yava ewa jjajjaawe ne mmufuulira ddala mukyala wange nnamba bbiri.

Wadde ono nali mmufunye kyali kinnuma mukyalamukulu okuba nga yanoba. Nasalawo okumwegayirira era oluvannyuma yakomawo.

Firimu z’azannye:

Firimu nazitandika mu 2005 Hussein Kagolo bwe yansaba nzannye mu firimu ye.

Abaana ba Lubowa abakulu, aba mukyalamukulu.

Firimu yange eyasookera ddala eyitibwa ‘Abakyala baagala ki?’ nga nazannya nga Muliraanwa omulungi. Firimu yatunda era abantu bwe baagiraba ne bagamba nti nazannye bulungi. Sadda mabega.

Endala kuliko  ‘Okuwoolera eggwanga’, ‘Sugar Daddy’, ‘Tomato Sauce’, ‘Kaziringitano’, ‘Candle in the wind’, ‘Omuzimu gw’obwenzi’ n’endala okuli  ‘Zubair’ eragibwa ku Bukedde tivvi nga nze kitaawe wa Bazubair 

Bwe natandika okuzannya firimu mukyala wange n’anoba era okumuzza lwali lutalo kubanga nasasula ne ku bantu ne bagenda okumwegayirira.

Nsobodde okuzimba Kalina y’ekirooto kyange nga ssente nziggya mu firimu ate nkyayagala n’okuzimbayo endala Allah bw’anaaba akkirizza.

Kyokka atega ogumu taliira, ne Lubowa alina omulimu omulala gw’akola.  Agamba nti: ‘Bwe mba sizannya firimu nnina ekirabo ky’emmere e Katwe muno okusinga mukyala wange y’abeeramu naye obw’olumu ng’enda ne mmuyambako. Kiyitibwa Yashy Halal Restaurant. 

Mukyalamukulu anyumya:

Nze Yudaya Namuwubya 52 nzaalibwa Masaka Kasana Kako ewa Hajji Juma Katongole ne mukyala Nantale.

Hajji Lubowa ono okundaba nali nzize Katwe kuwummula wa mukulu wange awo we yankwanira.

Lubowa n’ebijuujulu by’azannya nabyo firimu.

Nagaana kubanga nali nkyasoma naye teyalekera awo nga buli lunaku ajja  naye bwe yampa ebisumuluzo by’ennyumba ye n’agamba nti we nnaayagaliranga nga we ng’endera saasibamu kubanga nalaba ng’anjagalira ddala.

Bwe naddayo ne mbuuliramu bazadde bange tekyabasanyusa olw’ensonga nti nali nkyasoma. Naye ekyansanyusa Hajji olunaku lwe yang’amba okujja okumwanjula yakituukiriza bazadde bange ne bakkiriza. 

Okuzannya firimu kyannyiiza mu kusooka ne nnoba  ate laba bwe nzira nga yafuna nnamba bbiri. Kati we njogerera kinsanyusa kubanga famire yaffe bagiyita ya Ssereebu  kati eby’obuggya nabituuza wansi  ntunuulira bizinensi yange na kulabirira baana bange. 

Nnamba 2  Mariam Naiga:

Hajji okumusisinkana nali nnina gye ndaga ssente ne zinzigwerako awo. Mu biseera ebyo ye yali ssentebe w’ekitundu  ky’e Katwe ne mmutuukirira nga njagala annyambe anfunireyo ku ssente nsobole okugenda ewa jjajja e Kaddugala e Masaka.  

Yang’amba ngumiikirizemu   era ennaku ze namala ewuwe we yankwanira. Kati tulina abaana basatu.

 

 

Yasin Lubowa: Abaana ab’ekikadde bankozesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

Bakutte abavubuka b'oku Kal...

ABASUUBUZI mu lufula y’oku Kaleerwe baloopye akabinja k’abavubuka akabadde n’ebissi nga kigambibwa nti babadde...

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...