TOP

'Mukyala wange ampisaako abasajja n'abayingiza mu kisenge gy'anobedde'

Added 17th November 2013

ABAFUMBO abamaze emyaka 33 nga bali wamu batabuse omukyala ne bamugobera mu muzigo emmanju nga kati mw’abeera. Omusajja alumiriza omukazi nti mu muzigo gy’ali nti amujooga ng’aleeta abasajja mu muzigo, oguliraanye ekisenge ye omusajja mw’asula ku nju ennene.Bya KIZITO MUSOKE

ABAFUMBO abamaze emyaka 33 nga bali wamu  batabuse omukyala ne bamugobera mu muzigo emmanju  nga kati mw’abeera.  Omusajja alumiriza omukazi nti mu muzigo gy’ali nti amujooga ng’aleeta  abasajja mu muzigo, oguliraanye ekisenge ye omusajja mw’asula ku nju ennene. Omukazi naye agamba nti si waakukkiriza kugobaganyizibwa bwatyo kuva mu bintu naye bye yalinamu omukono.  

Bino biri Kabalagala, Teddy Nankya (60) ne David Walugembe (70) omukwano gwabwe bwe gufuuse omususa oluvannyuma lw’emyaka 33 nga kati bayising’anya nga baabigwo.  Ku nju y’emu kwe basula.

TEDDY NANKYA (Omukyala)

Twafumbiriganwa ne Walugembe mu 1980 nga yanzigya mu bakadde bange e Namuwongo oluvannyuma lw’okwanjula. Twasooka kubeera Mbuya, gye twava okujja wano e Kabalagala era nga mu bufumbo buno Mukama atuweereddemu abaana bataano.

Baze namusanga talina ky’alina, era ssente ezaazimba enju nze nazireetanga okuva ewaffe, ate endala nga nzeewola, tusobole okukola. Twagenda twezimba mpola era mu kiseera kino tulina ennyumba z’amaduuka n’ez’abapangisa.

Abaana bwe baakulamu omwami yagaana okubasasulira fiizi, namala kugenda mu kkooti n’akikola wabula era yalwa ddaaki n’agaanira ddala era bwe batyo ne bava mu ssomero.   Abaana baatandika emize omuli okuyingira amatumbibudde n’okusomba obuwala mu nju ya kitaabwe. Ng’omuzadde natandika okubagambako, kyokka omwami nga bino byonna abiwakanya nti nve ku baana, kuba baali bakuze.  

Mu lutalo lw’okutereeza abaana, omwami yasalawo okumpawaabira ku poliisi y’e Kabalagala ne banzigulako ogw’okubonyaabonya abaana. Bansiba emirundi musanvu ku poliisi nga banneeyimirira.  Kyokka emisango gyonna poliisi teyagyongerangayo.  Emirundi gye bansibye emisango gyange gibadde giteekebwa ku fayiro SD/33/27/3/2011, SD/59/20/10/2012, SD/42/1/2010, SD/93/14/5/12, SD/22/28/10/12, SD/59/20/10/12.

Angoba mu nju  ennene

Lumu nali nnaakayimbulwa mu kkomera mu 2010 ng’enda okukomawo ng’ebintu byange byonna eby’omu nju babikanyuze ebweru.     Nayagala okudda mu maka omwami n’annwanisa okukkakkana ng’anfumise ekiso. Naddukira w’omu ku balamu bange eyambudaabuda okumala emyezi munaana. Baze yagenda mu maaso n’okuntulugunya ng’anvuma n’okunkubira mu lujjudde  kwe kusalawo okumuloopa ku poliisi ya CPS. Eno bantegeeza nti ensonga ezaffe za maka nti nzitwale ku L.C bazigonjoole. 

Balamu bange nga bali wamu ne baze baddamu okunnumba ewa mulamu wange ne bandagira nawo nveewo. Naddukira mu kkooti y’e Makindye era omulamuzi Namagembe bwe yali asala omusango yalagira nti engeri  gye saali wa mpeta, bampeeko omuzigo gumu ogw’abapangisa n’ogw’edduuka mwe nali nkolera. Ne ku muzigo bannumba ne bang’amba nzire ewaffe, njagala tugabane ku mizigo kuba twagikola ffembi.

Ebyo by’agamba nti ndeeta abasajja mu muzigo alimba kuba ayagala nveewo wano kye siyinza kukola kuba ndi wange.

DAVID WALUGEMBE

Mu 1985 nafuna obuzibu bwe nakubwa amasasi mu magulu. Nalwala era ne njavuwala. Olwokuba nali sikyesobola, bakyala bange baatandika okumpisaamu amaaso.  

Mukyala wange ansibisa  

Mu 1986, mukyala wange yatandika okuleeta amateeka mu maka nga tagambwako era ekyaddirira ng’agamba nti mbatulugunya n’abaana be. Ebyatandika empola, byaggwa omukyala ansibisizza e Luzira okumala emyaka ebiri.  

Bwe navaayo abantu bampa amagezi okumuleka, wabula mmutunuulire butunuulizi. Wadde twali tubeera mu nju emu, kyokka nga nze ndaba mulabe okusinziira ku kye yali antuusizzaako.  Ggwe ssebo obeera muntu wa kika ki, eyeesiga omukyala akusibisizza e Luzira okumala emyaka?

Emabegako nali ng’enze okubanja omupangisa waffe kyokka mu kifo ky’okunsasula, yadda ku nze ng’akuba, mbu mmuviire ku mupangisa we. Olwo beegasse n’omupangisa ne bantegeeza nga bwe sijja kubasobola.  Omupangisa namuwawaabira ku poliisi y’e Kabalagala era ne bamuggalira, omukyala n’amuggyayo.

Bansibako ebisangosango ne bantwala mu kkooti, omulamuzi wa kkooti e Makindye bwe yali asala omusango yalagira omukyala anviire, kuba twali tujja kutting’ana. Yang’amba nti mmuwe omuzigo gumu ogw’abapangisa n’ogwo okwali edduuka. 

Ebbanga lyayitawo ttono ne nfuna bbaluwa empita mu kkooti enkulu era olwatuukayo nga bang’amba nti mbadde sirabirira mwana wadde nabalaga lisiiti, omulamuzi yagaana era ne bansindika e Luzira okuvaayo namala kusasula obukadde butaano.  

Embeera mu kiseera kino  

Omuzigo gwe namuwa gwali gwakupangisa naye yasalawo ye y’aba agubeeramu era w’asinziira okukola effujjo.  Mukazi wange okumanya ajooga wano mu muzigo we yadda, abasajja abaleeta kyere nga ndaba. Ejjoogo ly’omukazi ono lisusse, era y’ensonga lwaki namutamwa.   

‘Mukyala wange ampisaako abasajja n’abayingiza mu kisenge gy’anobedde’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...