TOP

Ababanja ebyobusika bazinzeeko nnamwandu ne yeggalira mu nju

Added 10th May 2015

BAMULEKWA abagenze bateese ku by’okwabya olumbe lwa kitaabwe olumaze emyaka 16 nga terwabizibwa, Nnamwandu abasibidde wabweru w’ekikomera nabo ne balemerawo nga we tuwandiikidde bino baakamala ennaku nnya nga bagumbye wabweru w’ekikomera.

Bya MADINAH SSEBYALA

BAMULEKWA abagenze bateese ku by’okwabya olumbe lwa kitaabwe olumaze emyaka 16 nga terwabizibwa, Nnamwandu abasibidde wabweru w’ekikomera nabo ne balemerawo nga we tuwandiikidde bino baakamala ennaku nnya nga bagumbye wabweru w’ekikomera.

Bano baana b’omugenzi Hajj Ali Nsiko eyali omutuuze w’e Kireka ‘B’ mu Kira Town Council ng’alina n’amaka e Naggalama mu Mukono.

Nsiko eyali ddereeva wa takisi yaleka amayumba g’abapangisa agasoba mu 100 n’ebyobugagga ebibalirirwamu obukadde obusoba mu 100. Abaana bagumbye wabweru w’ekikomera ky’amaka ga kitaabwe oluvannyuma lwa Nnamwandu Jalia Nakamatte okubasibira wabweru bwe baabadde bagenze okutuuzaayo enkiiko z’okwabya olumbe lwa kitaabwe.

Bamulekwa abasoba mu 25 nga bakulemberwamu mukulu waabwe Badru Kityo Nsiko baategeezezza nti, okubaggalira wabweru Nnamwandu atya nti bwe banaayabya olumbe ayinza okuggyibwako obuyinza n’ebyobugagga by’omugenzi ne bigabibwa. Bagamba nti yakozesa olukujjukujju n’afuna obuyinza bw’okuddukanya ebyobugagga nga buli mwezi asolooza ssente ezisuka obukadde 20.

Baakumye n’ekyoto awo wabweru we bafumbira era bawera nti, Namwandu oluggulawo nga nabo beesogga ennyumba yaabwe. Waliwo abamu ku baana ba Namwandu abaabadde bafulumyemu ne basanga nga babasibidde wabweru era bano be bakanyugira abali munda mu kikomera ebyokulya .

Omulenzi omukulu, Badru Kityo Nsiko embeera eno agyogerako bwati: “ Taata bwe yafa mu 1999 ensonga twazitwala mu ofiisi y’akola ku nsonga z’abafu mu kiseera ekyo n’atusidikira omukozi mu ofiisi ye Muky. Kiyingi n’abalirira ebintu nga byali biweza obukadde 75.

Mu lukiiko twakkaanya Namwandu asolooze amayumba nga bw’aweerera abaana kyokka bye twateesa teyabissa mu nkola era tewali mwana gwe yaweerera.

Yagenda mu ofiisi ekola ku by’abafu n’afuna obuyinza n’abaana be bokka b’azaala olwo n’atandika okusolooza ssente nga buli lwe twogera ku kwabya olumbe ng’akambuwala.

Obusungu twabufuna muganda waffe Babirye Nsiko afudde bwe yakozesa obuyinza bwe yafuna mu bukyamu n’agoba omulambo okuguziika ku biggya byaffe e Naggalama ng’agamba nti tusooke tumuwandiikire atukkirize okuziika era twegatta ne tuziika ku mpaka n’oluvannyuma ne tumugaana okuddamu okusaalimbira mu maka g’ekiggya. Olwo naye n’awera nti tetulinnyanga e Kireka.

Tusazeewo obutava wano okutuusa nga batuggulidde era tugenda mu kkooti esazeemu ebbaluwa ezimuwa obuyinza bw’okudukanya ebintu byaffe.Twagala atuwe ensaasaanya ya ssente zaffe mu myaka 16 gy’amaze ng’asolooza ate twagala twabye olumbe n’ebintu byonna bigabibwe tubiggye mu mikono gy’omuntu omu.

Muwala wa Namwandu, Fatina Nanjego yagambye nti: “Bakulu baffe abo taata yafa abagobye awaka. Obusungu maama bw’abalinako baamusibisa olwo naye n’abagaana okuddamu okulinnya mu maka . Ggwe oyinza okwagala omuntu akwagaliza ekkomera?” Omug

 

Ababanja ebyobusika bazinzeeko nnamwandu ne yeggalira mu nju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...