TOP

Mukyala wange yansiibulira mu kirooto

Added 3rd August 2015

‘Mwami wange mukwano hhenze sigenda kuddamu kukulabako beera bulungi,’ Bino by’ebimu ku bigambo mukyala wange omugenzi Stella Wanyama bye yasemba okuhhamba mu kirooto ekyaliwo mu kiro enkeera amale afe.”

Bya Sofia Nalule

‘Mwami wange mukwano hhenze sigenda kuddamu kukulabako beera bulungi,’ Bino by’ebimu ku bigambo mukyala wange omugenzi Stella Wanyama bye yasemba okuhhamba mu kirooto ekyaliwo mu kiro enkeera amale afe.” 

Nga nsimbula okugenda mu Amerika Stella yahhamba nti, 'hhenda kukunonako ku kisaawe e Ntebe ne bbebi waffe akukuliseeyo,’ wabula mukwano gwange kye yali anjagaliza tekyasobola kutuukirira kuba ate nze namunona mu ddwaaliro nga mulambo”. Omusumba Marxon Wanyama ow’ekkanisa ya River of Revival Ministries e Ganda bw’atandika emboozi ye ku mukyala we gwe yaleka ng’asulirira kuzaala ate n’afa nga yaakazaala.

Obuvubuka bwange bwonna nkuze nneegomba bavubuka bannange abakuze ne bawasa ne baba ne bakyala baabwe mu bufumbo obusanyusa. Nze nasabanga kimu butawasa bya kawundo kakubye eddirisa.

Twasisinkana ne mukyala wange nga nsoma ku yunivasite nga ye ali mu ssomero erimu e Mukono gye nali nkyalidde mukwano gwange. 

Buli lwe nakyaliranga mukwano gwange oyo nga nneetegereza mwana muwala ono. Olwali olwo ne tusisinkana. Twasooka kuba baamukwano nga ntya okutta ekyama era kino kyatambulira ddala okumala ebbanga. Ate wakati awo ne tuba nga tetulabagana. Twagenda okuddamu okulabagana, omwagalwa wange ono namusanga yazaala dda. Olwokuba yatwala obudde bwe okunnoonya ate nga nange nali mmwagala twatandikira we twali tukomye n’ebyaddirira mpeta. Tubadde twakamala emyaka ebiri mu bufumbo naye mu June w’omwaka guno Mukama yamuntutteko!

Atwalibwa mu ddwaaliro

Nafuna olugendo ebweru w’eggwanga era mu kugenda omukyala engeri gye yali omuzito namuleka mu mikono gy’omusumba omulala bwe tukola, Ben Tamale kuba si ye yali mu mbeera etiisa. 

Nasitula ne hhenda mu Amerika. Nga tannagenda kuzaala. Mukyala wange yankubira essimu gye saamanya nti ye yali esemba okwogerako naye. Yantegeeza nga bw’atawulira bulungi ne mmugumya nti Yesu ali naye, Mukama yandabikidde.

NKOMAWO KIPAYOPPAYO

Mikwano gyange nga bambuulidde ng’omukyala bwe yali azadde omwana kyokka ng’omwana ali ku mukka, omutima tegwaddamu kuntereera. 

Mu Amerika nali waakumalayo mwezi naye nalaba sitereera kwe kusaba bakama bange nkomewo eka. Nakyusa ttikiti y’ennyonyi ne nninnya ne nkomawo era natuukira mu ddwaaliro omukyala gye yali.

Natunula ku kabiite wange nga si y’oli kuba yali azimbye omubiri gwonna. Mu kiseera ekyo yali takyasobola kwogera era kye mmanyi teyantegeera. Namukwatako ne mmusabira awo ne nzira awaka. Enkeera naddayo mu ddwaaliro ne mmugulira eddagala eryali linsabiddwa wabula ate olwaddako n’ava mu bulamu bw’ensi eno.

Omukwano gwaffe

Okuva lwe nafuna mukyala wange tubadde mu mukwano ogwegombesa. Ye muntu abadde azimba mu mwoyo, mu byenfuna ne mu ngeri endala ez’obulamu. Abadde muwabuzi wange asooka era nga bwahhaana ekintu sikikola. Kye sigenda kumwerabirako anjigirizza okulya, nga waakiri akwata wuuma n’andiisa ku mpaka.

Nkyalina obulumi ku mutima bwe simanyi nti bugenda kunvaako mangu. Sigaana nti Katonda aba asazeewo naye tusaanye tukkirize nti oluusi wabaawo n’obugayaavu abantu baffe abamu ne bafa nga tebannatuuka. Kumpi nsasudde obukadde obuwera ana nga ngula mirambo ebiri ogw’omwana  n’omukyala!

Stella ansiibula

Mu kiro enkeera Stella amale afe nali ku buliri awaka nga nzizeeyo okuwummulako nga bwe nsaba Mukama Katonda. Mu kirooto nawulira mukyala wange ng’azze  ku buliri bwaffe kwe nali nneebase.   

Yatandika okunkwatako ne nneekanga era amangu ago ne mmubuuza owona ddi okomewo awaka. Wano yanta omukono mu ngeri yaakugukasuka eri awo ne mmulengera mu tawulo ng’alabika bulungi.

Yali atambula ng’abulirayo. Yahhamba nti mwami wange mukwano hhenze sigenda kuddamu kukulabako beera bulungi nga bw’ansiibula n’abula.

Enkeera ssimu ye yanzuukusa ey’eddwaaliro e Nakasero nga be nalekayo bantegeeza nti takyenyeenya hhenda okutuukayo nga yafudde dda.  

Mukyala wange yansiibulira mu kirooto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....