Ababaka ba Buganda balabuddwa ku ntalo

NewVision Reporter
Journalist @NewVision
May 17, 2021

OMWAMI wa Ssabasajja Kabaka atwala essaza ly'e Busiro Ssebwana Kiberu Kisiriiza alabudde ababaka ababaka ba Palamenti abava mu Buganda abatandise okweyinza mu ntalo ezirwanyisa obwa Kabaka n'ategeeza nti bonna abakikola baakukisasulira.

Ssebwana okwogera bino asinzidde mu kusiibula abadde Meeya w'e Nakawa Eng.Ronald Balimwezo bw'abadde asimbula okuva mu maka ge e Mutungo okwolekera  Palamenti okulayizibwa mu butongole nga Omubaka wa Nakawa East omujjuvu.

Bw'abadde ayogerako eri abakulembeze abalonde,Ssebwana Kisiriiza ategeezezza nti okusoomezebwa kwonna Buganda kwerimu Kati kusinze kuva ku bamu bannabyabufuzi abakolokota Katikkiro olw'okweyagaliza n'abalabula okukikomya.

Mu ngeri y'emu Ssebwana alabudde ababaka ba Opposition abaalondeddwa mu Buganda okwejjamu enjawukana z'eby'obufuzi wabula bakolagane Gavumenti okutuusa obuweereza ku bantu abaabalonda.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});