KATIKKIRO Charles Peter Mayiga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okukimanya nti tewali mulundi gwonna abantu lwe bagenda okukomya okwegwanyiza obuyinza kubanga kya buntu, obukulembeze buli omu abwagala okuviira ddala wansi ku kyalo okutuuka ku Bwapulezindenti n’olwekyo eggwanga lisaanye okuweebwa omukisa okuva mu bunkenke ng’abavuganya batuula wansi okugonjoola obutakkaanya obuliwo.
Bino abyogeredde mu lutuula olusooka olw’olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 26 olutudde e Bulange-Mmengo leero ku Mmande nga 03, September, 2018 nga lwakubiriziddwa sipiika wa Buganda, waalwo Nelson Kawalya n'agamba nti obukambwe obwolesebwa gavumenti mu kiseera kino eri abagivuganya tekiyinza kugaana bantu kusigala nga beegwanyiza obuyinza.