TOP
  • Home
  • Gallery
  • Museveni atenderezza Polof. Apollo Nsibambi: 'Atadde ettofaali ddene ku nkulaakulana y'eggwanga'

Museveni atenderezza Polof. Apollo Nsibambi: 'Atadde ettofaali ddene ku nkulaakulana y'eggwanga',

Added 29th May 2019

PULEZIDENT Yoweri Kaguta Museveni, akyadde mu maka g'eyaliko katikkiro wa Uganda Polof. Apolo Nsibambi agasangibwa ku kyalo Bulange A, mu muluka gw'e Lungujja mu mu Munisipaali y'e Lubaga leero ku Lwokusatu ng'ali ne mukyala we Janet Museveni nebatuusa okusasira kwabwe eri abenganda z'omugenzi.

Museveni  yatenderezza Nsibambi okuba omukkakkamu, omukozi ayagala ennyo eddiini ye, amaka ge n'eggwanga lye. Bino yabyogedde eri abakungubazi abaabadde mu maka ga Nsibambi.

Yasoose kwogera ne famire munda mu nnyumba n'agiwa amabugo mu bbaasa n'oluvannyuma n'afuluma ebweru okwogerako eri abakungubazi.

Yagambye nti, abadde musajja ayagala ennyo eddiini ye era Namirembe bweyali mu Tegula Pulojekiti, yamusendasenda naye naagyegattako n'abaako kyetaoola ku nkulakulana y'ekkanisa.

Yagambye nti, Nsibambi atadde ettaffaali ddene nnyo ku nkulaakulana y'eggwanga lino era Uganda efiiriddwa omuntu owomugaso ennyo.

BYA LAWRENCE MUKASA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...

Omusuubuzi w'omu Kampala as...

OMUSUUBUZI w’omu Kampala omututumufu asirittuse nga yaakatuuka mu maka ge agasangibwa e Najjeera, mu Munisipaali...

 Hamuza

Abadde agenze okubba bbooda...

Abatuuze b’e Kisoga ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono bateeberezza omusaja okubeera omubbi wa ppikipiki ne...

Taata agobezza abakungubazi...

Taata agobezza abakungubazi omulambo nga yeekwasa amawano