TOP
  • Home
  • Gallery
  • Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala,

Added 18th July 2019

NAKOMYEWO awaka eggulo (Lwakuna) nga bukyali ne tuyingira mu nnyumba ne tutandika okusiika kabalagala. Awo we nakomye okutegeera, hhenze okudda engulu nga ndi mu ddwaaliro bantaddeko amacupa.

Nakitegedde luvannyuma nti mukyala wange, Prossy Namata yafudde. Maurice Ssali omutuuze w'e Bulenga mu zooni A, y'annyonnyola ebyabatuseeko nga beggalidde mu nnyumba yaabwe ekiro.

Ssentebe w'ekitundu, Luyimbaazi Bisaso agamba nti abafumbo bano baasembyeyo kubalabako kawungeezi mu maka gaabwe nti kyokka bwe bwakedde, baaluddewo okuggulawo kye batakola bulijjo era bwe baakutte ku luggi nga luggalire munda.

Abatuuze baasazeewo okuyita poliisi eyazze n'emenya oluggi kwe kusanga nga Ssali aboyaana takyategeera kyokka nga mukyala we ye mufu. Ssali yatwaliddwa mu kalwaliro mu kitundu okumukolako.

Kiteeberezebwa nti abafumbo bano amanda ge baabadde bafumbisa nga beggalidde, gaavuddemu omukka ogw'obutwa gwe baasise.

Kigambibwa nti Namata okufa amangu yabadde lubuto ng'omubiri gwe mugonvu. Nnannyini mayumba gano Michael Kategano yagambye nti abafumbo bapangisa be balungi era abavubuka abato abakkakkamu.

Ku mayumba ge babadde baakamalako emyezi musanvu era abadde talabanga muntu yenna gwe bayombye naye.

Akulira poliisi y'e Bulenga, John Byamugisha yawadde abatuuze amagezi okukomya okufumbira mu nnyumba kubanga agamu ku manda ge bafumbisa gaggyibwa mu miti gya butwa ng'omuntu bwasika omukka ogugavaamu bwe gwegatta n'ebbabe lya butto bifuuka butwa obw'obulabe eri abantu.

Yayongeddeko nti mu mbeera y'emu era abantu abamu babeera n'endwadde endala mu mibiri nga baziyira mangu.

Ssali kyategeerekese nti nzaalwa y'e Gogonya mu Wakiso ate Namata w'e Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...