TOP
  • Home
  • Gallery
  • Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa

Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa,

Added 3rd November 2019

Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa!

ABASAABAZA enseenene  okuva mu byalo bakubye poliisi y'ebidduka ekimmooni ne baziyingiza  Kampala  nga  ziri mu madirisa ga mmotoka endala waggulu ku bbonti ne ku bbuutu  nfa kino kimenya mateeka agafuga ebidduka  n'okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Abamu ku ba tulafiki  bwekyabayitiriddeeko , beefudde abatalaba kigenda mu maaso  nga batya abantu abaabadde nabo abali ku mugano ng'ogwenswa nga  baaniriza  enseenene ezaabadde  ziyingira Kampala mu bungi.

Mu kisaawe ky'e Katwe  ekirin emabega w'akatale ka Kakaba ak'e Katwe nga kino kyekimu ku bifo  ekyassibwawo ekitongole kya KCCA ebitongole mu Kampala omulina okutundirwa e nsenene  mmotoka zaatandise okuyingira okuva ku ssaawa munaana  ogw'ekiro  ekyakeesezza ku Lwomukaaga.

Bangi  ku bakozi mu mu butale obw'enjawulo mu Kampala  baavudde ku by'amaguzi bye babadde  basuubula  mu nkola  eya bulijjo ne badde ku nseenene nga kati ky'ekyettunzi.

 Abamu  basuubula bukutiya oluvannyuma nebatandika okuzirejjesa nga bapima za 1,000/- n'okudda waggulu ate abalala bazikongola ne bazitunda nga tekuli byoya nga tampeko y'enkongole etandikira ku 4,000/- okudda waggulu ate abalala bwe balaba nga zigenda kuboonoonekako  nga bazifumba ziriko ebyoya.

Moses Kateregga omu ku bazisuubula b'ensense  abamanyifu  e Katwe  yagambye nti  wadde  ku Lwomukaaga zazze mu bungi  emiwendo gyazo gibadde gikyali waggulu.

Ekitundutundu ky'akasawo ka sukaali aka kiro 50 nga kino kye kipimo ekimanyiddwa  mu basuubuzi  b'enseenene ku Lwomukaaga  ku makya  kyabadde ku 200,000/- wabula ng'ebiseera  ebimu kirinnya  ne kituuka mu 500,000/- n'okusingawo  ate bwe ziba mu kidibo zikka  ne zituuka ku 50,000/-.

David Mukasa nga  naye musuubuzi waazo yagambye nti  Bannayuganda  abali mu Bungereza  n'amawanga amalala   buli mwaka  omwezi gwa  November bagwesunga nga mbaga olw'enseenene  era zitwalibwa mu bungi mu mawanga  ag'ebweru wadde ng'ebiseera  bino bagezaako okutangira abatambuza ebiwuka ebyabuli ngeri ku nnyonyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu