JOHN Blaq akikubye ku Freedom City n'aleka ng'abawagizi be beenuguuna n'okusaba anko.
Abadigize abazze mu kivvulu kya John Blaq bamulaze omukwano mu konsati ye eya 'Aya bbaasi' esoose bukya ayingira nsiike ya kuyimba.
Ono nga tannalinnya ku siteegi, yasoose kubuuza ku bawagizi be. Yajjidde mu mmotoka eyamuyisizza mu bawagizi oluvannyuma n'agibuukamu okulinnya ku siteegi kyokka abawagizi be ne bamusika nga baagala kumukwata bw'atyo n'agenda ng'ababongako kyokka ba kanyama baalabye abantu bongera kumuyiikira ne bamuggyawo n'alinnya ku siteegi olwo enguliko n'etandika.
Yasoose kubakuba 'Do dodododo dat njagala butter ng'aliko n'omugaati' olwo enduulu n'evuga n'abaabadde bakyesisiggirizza mu butebe ne basituka ne batandika okuzina ng'eno bwe baleekaana n'okusuuta omuntu waabwe.
Blaq yayimbye ennyimba ze zonna okuli Obubaddi, Sweet Love era ne yeenyiga ne Vinka n'amusitula n'okumusitula olwo n'azzaako Kamotoka luno yaluyimbye ne Iryn Namubiru, Maama Bulamu, Tukonekitinge wamu n'endala nnyingi.
Bakira ayimba bwe yeebaza abantu okumuwagira.
Yawerekeddwako abayimbi okuli, Eddy Kenzo, Opa Fambo, Suspekt Leizor, Karole Kasita, Recho Rey, Nu York Da Styla, Erik Disk, Pallaso, VIP Jemo, Fresh Kid, Jowy Landa wamu n'abalala bangi.