TOP
  • Home
  • Gallery
  • Maj. Kakooza Mutale asuze ku ntaana ng'akungubagira Kasirye Ggwanga

Maj. Kakooza Mutale asuze ku ntaana ng'akungubagira Kasirye Ggwanga

Added 6th July 2020

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza okubeera omuzira. Maj Kakooza Mutale yatuuse ewa Kasirye Ggwanga e Nkene mu ggombolola y'e Maanyi mu Mityana ng'ali mu mmotoka ye entono ne kabangali eya kyenvu kweyabadde atisse enku z'okukuma ekyoto ku ntaana ya Kasirye okumukungubagira.

MAJ Roland Kakooza Mutale n'ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza okubeera omuzira.  Maj Kakooza Mutale yatuuse ewa Kasirye Ggwanga e Nkene mu ggombolola y'e Maanyi mu Mityana ng'ali mu mmotoka ye entono ne kabangali eya kyenvu kweyabadde atisse enku z'okukuma ekyoto ku ntaana ya Kasirye okumukungubagira. 

Yasanzeyo muto wa Kasirye, Paul Kabenge eyamwanirizza nabooluganda lwa Kasirye abalala n'abakozi mu ffaamu n'abeeyanjulira, era n'abawa ensonga 2 ezamugaana okuziika munywanyi we Kasirye. 

Mutale yategezezza nti emu ku nsonga eyamugaana okuziika, yanyiigira munywanyiwe Kasirye okumulekawo n'asuula engabo nga bali mu lutalo wakati olwa Covid 19 lwe baali bateesezza okulwana okutuusa nga baluwangudde. 

Ensonga eyookubiri yagambye nti yakitegeera nti abaali bazze okuziika Kasirye okuli n'abakungu abamaanyi baali tebamanyi Kasirye nga bwe baali beemanyi ng'ate tebayinza kumuwa mukisa kumwogerako by'ayagala kwogera kwe kusalawo ajje yekka akungubagire muzira munne. 

Mutale yakulembeddemu abajaasibe ne muwalawe Jackline Nalugo ne bateeka bbendera y'eggwanga nga akabonero akalaga nti Kasirye yalwanirira eggwanga lye natuuka nokusibwa eTanzania. 

Oluvanyuma akumye ekyoto okumpi ne ntaana ya Ggwanga wasuze nga akungubaga nabajaasi, natuula naboluganda abakulembeddwamu Kabenge amulajaanidde ku nsonga z'abakayanira ettaka Kasirye we yaziikiddwa era n'abasuubiza okutuula mu nsonga ezo okulaba ng'ataasa eyabadde munywanyi we obutaziikuulwa.

MUTALE n'ekibinja kya bajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga
nga bamukungubagira nebamutendereza okubeera omuzira.

Maj Kakooza Mutale yatuuse ewa Kasirye Ggwanga eNkene mu gombolola ye
Maanyi mu Mityana ngali mu motokaye entono ne kabangali eya kyenvu
kweyabadde attisse enku zokukuma ekyoto ku ntaana ya Kasirye
okumukungubagira.

Yasanzeyo muto wa Kasirye, Paul Kabenge eyamwanirizza naboluganda lwa
Kasirye abalala nabakozi mu faamu nabeyanjulira, era nabawa ensonga
ezamugaana okuziika munywanyi we Kasirye bbiri.

Mutale yategezezza nti emu ku nsonga eyamugaana okuziika,yanyiigira
munywanyiwe Kasirye okumulekawo nasuula engabo nga bali mu lutalo
wakati olwa Covid 19 lwebaali bateesezza okulwana okutuusa nga
baluwangudde.

Ensonga eyokubiri nakitegeera nti abaali bazze okuziika Kasirye okuli
nabakungu abamaanyi baali tebamanyi Kasirye nga nze bwetwali twemanyi
ngate tebayinza kumpa mukisa kumwogerako byenjagala kwogera nensilawo
nze njijje nzekka mukungubagire muzira munnange bwatyo Mutale
bweyategezezza abaluganda lwa Kasirye.

Mutale akulembeddemu abajaasibe ne Muwalawe Jackline Nalugo nebateeka
bbendera ye ggwanga nga akabonero akalaga nti Kasirye yalwanirira
eggwanga lye natuuka nokusibwa eTanzania.

Oluvanyuma akumye ekyoto okumpi ne ntaana ya Ggwanga wasuze nga
akungubaga nabajaasi, natuula naboluganda abakulembeddwamu Kabenge
amulajaanidde ku nsonga zabakayanira ettaka Kasirye weyazikiddwa era
nabasuubiza okutuula mu nsonga ezo okulaba nga ataasa eyabadde
munywanyi we okuzikuulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namwanje ng'alaga ennyumba mwe yali atadde essomero.

Abasomesa balojja omuggalo ...

AWAALI essomero e Kabowa, bw'oyitawo kati ekiro owulira bafuluuta! Oyinza okusooka okulowooza nti osanga bayizi...

Mukasa ng'ayambaza owa bboodabbooda ekikoofiira.

NRM yandikozesa akavuyo ka ...

MUNNA NRM, Charles Keneth Male atandise okubuguma oluvannyuma lw’okulaba ng’amuvuganya mu Lubaga South bayitiridde...

Omusumba Mutesasira (wakati) ne Nyamahunge nga baakagattibwa mu kkanisa ya Entebbe Faith Power Centre.

Eyali bba wa Julie Mutesasi...

OMUSUMBA Steven Mutesasira nga ye bba w’omuyimbi Julie Mutesasira ow’Ekkanisa ya Lord Evangelistic Church Kamwokya...

Masaba

URA FC ekomezzaawo omutende...

OMUTENDESI Simeon Masaba asuddewo Wakiso Giants FC n’addayo ku URA FC mu liigi ya babinywera nga ttiimu zetegekera...

Cheptegei

Cheptegei akomyewo: 'Tutunz...

Omuddusi Joshua Cheptegei wamu ne banne okuli; Stephen Kisa ne Victor Kipragata bakomyewo mu ggwanga oluvannyuma...